Olubugo Lwe Lugoye Lwa Baganda Olwasooka
Emitendera Egiyitibwaamu Okukola Olubugo Tusobola Okugifuula Ekyobulambuzi
Uganda Today:
Okukomaga Kyeki?
Okukomaga gyemitendera egiyittibwaamu okukola Olubugo. Olubugo Lwe Lugoye Lwa Baganda olwasooka Abaganda lwebayiiya okwambala okusobola okwejjako ensonyi olwokuyita obwerere.
Olubugo lwayiyizibwa Abaganda Bazzukulu ba Kisolo ab’Engonge Wamala ne Kaboggoza era awo nebajjako Obuganda ensonyi ezokuyita obwerere. Abawarabu abasooka okujja mu Buganda okuleeta engoye n’ebirala ebyakozesebwaanga abantu abagunjufu, basaanga Abaganda bambala Embugo.
Okwefananyirizaako ebyawandiikibwa nga bwebiraga mu Lubereberye nti Katonda yatonda Adam ne Kaawa naabateeka mu Lusuku Eden nga bali bwerere, era nabalagira obutalya ku Muti oguli mu Lusuku mummakkati, naye nga bwetumanyi ebyaddirira Omusota bwegwasendasenda Kaawa okulya ku kibala ky’Omuti ogwomummakkati, ate era natwalirako Bba Adamu nebakizuula nti baali bwerere, bo batuunga amalagala g’Emiti nebambala.
Naye Abaganda bayiiya Olubugo nebalekeraawo okwesiba Amaliba agebikkalappwa ebyabasunaanga.
Wammanga mu katambi kano, laba emitendera egiyitibwaamu okukola Olubugo.
Nga CNN, BBC,CBNS, National geographic bwebagenda okujja e Rwenzururu mu Rwenzori Tulji okuva nga 31 okutuusa nga 4, kyandibadde kirungi abakomazi b’Embugo nebakwaatagana nabo nebasobola okubatunda mu balambuzi emitala wa Mayanja nga bamaze okuteekateeka obulungi ekkomagiro nga ekyobulambuzi.
Nga bwekiri nti Babylon Gardens eziri ku Rwenzori mountain zezisinga obulungi mu Nsi yonna, era nga zisikiriza abalambuzi okujja okuziraba, bwekityo ne Kkomagiro eritegekeddwa obulungi tewali nsonga egaana balambuzi kujja kulaba ngeri Olubugo gyerukolebwaamu.
Akazinga ka amazzi akagatta enyanja George ne Edward nga mwemusangibwa Envubu enyingi munsi yonna, ebitundu 38% ebyebinyonyi n’Emwaanyi ezisinga akawoowo byankizo nnyo mukusikiriza abalambuzi okujja wano. Kale nno ne Ekkomagiro eddungi nga omulambuzi ajja nalaba emitendera egiyittibwaamu tewali nsonga egaana bakomazi kunoga nsiimbi.