Obulamu bulimu ebiwonvu n’ebikko, n’olwensonga eyo omuzadde Yenna alina okubulirira omwana mungeri eno wammanga.
EBBALUWA OKUVA EW’OMUZADDE:
🥀 Mwana wange
kansuubire nti oli bulungi naye njagadde okukujjukiza ebigambo bino:
🥀 Olina okujjukiranga nti ensi eno wagiyingiramu bwomu naye ndaba ebikusoomoza bingi mu kaseera k’olimu, naye manya nti tolina kye wajja nakyo mu nsi. Wali bwereere era ojja kugenda oli mwereere.
🥀 Njagala nkusibirire entanda gy’olina okutambulirangako ng’okyalina omukka mu nsi muno.
🥀 Ekisooka tewekkiriranyanga, teweesukkulumyanga n’amalala geewale.
🥀 Ekitali kikyo tokikakanga wabula olina kkola bukozi okuteekateeka ekiriba ekikyo.
🥀 Mwana wange tofunanga ensaalwa n’obuggya ku kitali kikyo, wabula oyagalizanga abeera afunye kuba oyo y’ayinza okukuyamba nga embeera ekubijjiridde.
🥀 Bw’olabanga akusinzeeko tonyiiganga bunyiizi na kumuteekako bukyayi, wabula omwebuuzangako obukodyo bw’akozesa okuwangula ebizibu ebijjudde munsi muno.
🥀 Tonyoomanga muntu yenna ne bw’abeera mulalu kuba buli muntu alina omugaso mu nsi eno. Jjukiranga okuwa ekitiibwa abo abakusinga emyaka kuba eriiso ly’omukulu awaddugala we walaba.
🥀 Oyanirizanga buli muntu azze gyooli, sso ng’olina okwegendereza ennyo lwaki omuntu oyo azze gyooli kuba buli omu ajja n’ekigendererwa kya njawulo.
🥀 Oyambanga omuntu bwe kibeera kyetaagisizza naye toyambanga nti alina okukusasula ky’omukoledde wabula okikolanga nga osuubira okusiimibwa n’emikisa okuva eri Katonda.
🥀 Toduuliranga boosinga kuba omugabi ali omu mu nsi era nga ye Mukama Katonda.
🥀 Ojjukiranga abakuyambyeko mu lugendo lwo okutuuka wotuuse nga tokakiddwa.
🥀 Fuuka eky’okulabirako mu bigambo by’ofulumya era obiteekenga mu nkola kikuyambe okukuuma emikwano.
🥀 Olowoozanga emirundi egiwera nga tonnakola kintu kyonna oba okubaako ky’oyogera mu mbeera ey’obusungu oba essanyu.
🥀 Njagala okimanye nti si buli akubeera ennyo ku lusegere ye munno ate ekirala weewale omuntu akuwaanira mu nsobi nga tasobola kukubuulira mazima.
🥀 Okkakkanyanga omutima n’emmeeme yo bwe wabeerangawo enjawukana mu banno, era owulirizanga ebiteeso byabwe nga mutudde.
🥀 Tosiganga bukyaayi era tosalirangawo mu busungu. Amasanyu g’ensi geewale kuba gawabya.
🥀 Essanyu eringi lireeta amaziga ate n’ennaku ennyingi ereeta essanyu, kale buli kimu kipimire mu budde bwa kyo.
🥀 Bw’olabanga buli abadde mukwano gwo akudduse, weefumintirize mumutima ozuule obuzibu bwo oleme kulowooza nti banno be babi.
🥀 Tobeeranga ow’enkwe kuba ennaku kubanga okulya enyiingi ssi kuggwa maddu, era olyanga kuntono nga tezirumira.
🥀 Teweenyigiranga mu bikolwa eby’ekko ng’obubbi, obwenzi wamu n’obulogo kuba ebyo Omutonzi waffe tabyagala.
🥀 Teweefulanga omumanyi asinga abalala kuba okumanya tekuggwaayo.
🥀 Tokulembezanga ssente nti yeekola emikwano wabula osobola okubeera omukulembeze nga n’abantu bakwenyumirizaamu ng’ate tolina ssente nyingi.
🥀Akajja obunaku keemanya; Ejjanzi teribuuka na Nzige, ojjukiranga nti okutambula n’abalangira tekikufuula mulangira kale ggwe olina okukolerera obulangira bwo.
🥀 Okuumanga ebyama by’amaka go n’eby’abalala.
🥀 Bw’olabanga okola nnyo naye nga tofuna tonyiigiranga Katonda kuba ogwo guyinza okuba gwe mugabo gwo gwe yakutegekera.
🥀 Tosabanga ng’okyalina emikono beeranga omukizi kungwa kubanga omugezi agamba nti obirekenga nootobyegomba.
🥀Yagala nnyo obuwangwa bwo kuba mwemuli empisa ezikuteekateeka okufuuka omuntu asaanidde. Beera wa mirembe n’ensi ejja kukubeerera ya ddembe. Weesigamenga ku bamalayika ba Katonda basobole okukuwabulanga mw’ebyo ebiba bikusinzizza amaanyi.
Nze Muzadde wo.