Uganda Leero: Ebyembi bisekerwa, ate era n’obutamanya butambuza amazzi ekiro. Lino jjo lyabalamu waliwo minisita mu gavumenti eyawakati eyavaayo naasamwasamwa n’ebigambo nti “Kabaka talina Ttaka mu Buganda”
Ebigambo bino byawawaaza bangi amatu neberabira nti nga ojjeeko Katonda, eri Omuganda yenna Ssaabasajja yaddako era kyaava aweebwa ammanya olukunkumuli ekiraga nti assukulumye ku balala.
Wano owenjogera enyangu wagambira minisita ono nti “afungalalire eri nga Ekyonga ekitayokya” ave ku Kabaka wa Buganda. Ye abaffe ono minisita era Omuganda gwagamba nti yekaninkiriranga obusawo obukamula Kwete, era Omuganda amunyonyola n’ekisoko ekigamba nti “kabulangane kafenyere Ebbuga lyaala bbisi”.
Bannaffe abe Sudan bo baategeera dda Kabaka ki kyaali, era Uganda Leero ewa minisita ono amagezi agende e South Sudan abebuuzeeko asobole okumanya Kabaka yaani, Kabaka alina kifooki mu Uganda eyawaamu era asaanidde kutwaliibwa atya?