Obukennuzi Ku Kisaawe Entebbe Obusukka Amaaso Wegalaba
Abakozi Abasajja Bakwakkula Ebisobooza Ku Bakazi
Obukennuzi, Ku Kisaawe Entebbe Obusukka Amaaso Wegalaba.
Bukya omweezi guno gutandika, amawulire gajjula obubbi nobukennuzi ebikolebwa abakozi ku Kisaawe kye Nyonyi ekye Ggwanga Entebbe.
Abantu bangi naddala ba “ngenda bweeru kukuba ekyeyo” abawala abakazibwaako erya ba “Kadama”. Bangi ku bano, bagamba nti abakozi kukisaawe babasaba enguzi mu Doola basobole okubaleka okugenda okulinnya enyonyi. Kino bakikola bwebaba beekeneenya ebiwandiiko byaabwe nga tebanabakiriza kulinnya Nyonyi.
Emirundi miingi, bano balekebwa enyonyi ebirooto byaabwe nebifiira awo!
Okukwakkula Ebisobooza Ku Bakazi.
Lubadde teruli lutyo, tubadde tukyaali ku kyabukennuzi, ate newajja omuwala nga awulirwa agamba nti ye, omukozi omusajja gwatayatukiriza linnya, yamukwakkulako ebisobooza ate ebyembi namufunyisa olubuto ku olwo nga amuyingizza mu Kabuyonjo, ekintu kyeyategeera nga amaze okutuuka e Buwarabu.
Omuwala ono mukatambi ka TikTok agamba, nti yasoma era nga alina degree ya Procurement and Logistics, Kyambogo University, yabulwa omulimu wano mu Uganda kwekusalawo agende ebweeru ayiyize eyo.
Bwekyazuulwa nti yali ali lubuto ate nga abawala bonna balina okkeberebwa oba tebali mbuto nga tebanagenda, yazzibwa mu Uganda. Naye ate era agamba nti bweyadda yatuukirira omusajja eyammuwa olubuto ku Kisaawe nga ayita ku ssimu, ekyennaku nti omusajja yamutiisatiisa era naaziyiza ne ssimu y’omuwala obuttaddamu kumukubira.
Omuwala annyonnyola nti yamala naazaala omwana omulenzi, gweyalekera Nyina naddayo e Buwarabu nabuli kati gyaali.