Obadde Okimanyi Nti Kabaka Tasikkirwa
Buli Kabaka Alinnya Ku Namulondo Aba Atandika Bwakabaka Bwe
Uganda Today: Musajja mukulu Katwere Musajja Akaawa Ow’engonge nga asinziira ku Bbaluwa erabika nti njingirire okuva ew’Omutaka Kasujju Lubinga agamba bwaati MUNZIKIRIZE OKUDDA MU BBALUWA Y’OMUTAKA KASUJJU LUBINGA.
Mu buwangwa n’ennono y’Abaganda n’Obwakabaka, bino wammanga bye bikugira Kabaka okwenyigira mu mizizo gy’okuvuma Abalongo: (okuvuma Abalongo kitegeeza okunyonyola n’okulambika obuzaale bw’Abalangira n’Abambejja b’Engoma).
1- Kabaka taba na Kitaawe, yadde omusika wa kitaawe.
2- Kabaka, abaana b’Eŋŋoma n’abaana ba Mujaguzo tebalina Mutuba gwa Ssekabaka yenna gye basibuka.
3- Omutaka Mugema ye yekka alina obuvunaanyizibwa ku baana b’Eŋŋoma.
4- Omutaka Kasujju Lubinga talina buyinza yadde obuvunaanyizibwa ku baana ba ŋŋoma. Obuvunaanyizibwa bw’Omutaka Kasujju Lubinga bukoma ku Baana ba Mujaguzo.
Abaana b’Engoma, bebaana ba Kabaka alamula Obuganda, ate abaana ba Mujaguzo bebaana ba Ssekabaka eyazaama bazaala. Era bano Kasujju Lubinga balinako obuvunaanyizibwa. Edda omulangira bweyalyanga Obuganda nga Kasujju Lubinga avunaanyizibwa okukwaata abalangira bonna abamujaguzo nabatwaala e Katereke nabakuumira eyo obutataganya Kabaka asobole okulamula Obuganda mu ddembe.
Era kino kyekyaviirako Kabaka okuvaanga mu Lubiri nadda ebweeru nalamusa Mujaguzo nga kimaze okkakasibwa nti teri Mulangira noomu mu Lubiri akyakangaza okuwakanya Ssaabasajja. Kano akabonero akalaanganga nti Obuganda buladde Kabaka alamula. Nabuli kati Kabaka alamula Mujjaguzo okulaga nti mwaali alamula Obuganda.
Omulangira okufuuka Kabaka, kitaawe amala kufa.
Tewali asikira Kabaka, kubanga Lubuga abeerawo nga Omulangira afuuka Kabaka okulya Obuganda, yadda mu buyinza bwa Kitaawe, nga Nnalinnya w’Olubiri lwa Ssekabaka oyo.
Awo nno omulangira adda ku Nnamulondo, aba tasikidde kitaawe. Wabula aba atandise Obwakabaka bwe; era talina buyinza kulamula Mbiri za Bassekabaka; talambula mbiri ezo, wabula bwakikola aba akyaddeko mu bajjajjabe.
ENSOBI KU BYAMA EBIKUSIKE, ZIVUDDE KU KULEMESA BASIIGE KUKOLA BUVUNAANYIZIBWA BWAABWE.
Musajja Akaawa agamba nti yali nsobi Nnaabagereka okwesowaloyo okulangirira nga bweyazaala Abalongo newankubadde nti ekyaama kino kibadde kikumiiddwa okumala emyaaka egisoba mu kkumi.
Omuganda owabulijjo bwazaala Abalongo, akalombolombo k’Abaganda kamulagira okulinnya ku kasolya k’enyumba ye nalangirira nga bwazadde ab’Abalongo.
Naye ate ku Ssaabasajja Kabaka Omutaka Mugema yalina obuvunaanyizibwa okulangirira eri Obuganda nti Kabaka ayongedde ku baana b’Engoma oba Balongo oba abaana abalala bonna.