Somali Direct Investment Opportunities

Nambooze Embeeraye Tewomesa Nakabululu

Agamba Nti Yandibaamu Okwetukuta Kw'omusaayi

Omubaka wa Palimenti mu lukiiko lwe Ggwanga owa Mukono Municipality nga kati ali mu myeezi, nga ajjanjabirwa emitala wamayanja, MP Nambooze Bakireke, nga asinziira ku mukutu gwe ogwa Facebook, annyonnyola bwaati embeeraye.

MP Nambooze nga bweyalabika nga asibiddwaako enkoba okusobola okuzza amaggumbage ag’omukono ogwa ddyo munteeko.

Kuno kwebayita okugumira obulwadde naye banange omukono gunnuma ebitanyonyolekeka….okujjako okubagamba nti nina ennaku ku mwooyo kuba nokuwandiika ekiwandiiko bwekiti sikyasobola era nga nzenna zimbye mu kifuba,face n’emikono nga n’abasawo kati bagezaako okunonyereza balabe oba nnina ne omusaayi ogwetukuta (clot) nga kyekivuddeko okuzimba.

Ndowoozezza nti nina obuvunanyizibwa okubabulira bwendi. Munsabireko banange. Sikyebaka ggwe bakugamba batya nti balinga abakulabamu clot ottulo ne tujja?

Advertising Somali Direct Investment Opportunities

Ekifanaanyi kya xray kiraga obuvunevobwantuusibwaako emyaaka 5 emabega nti bwaali bwakummenyera ddala eggumba ly’omukono. Kati bwennagwa mukinaabiiro, ekitundu kyomubiri ekyaali kisigadde nga kiwaniridde eggumba nakyo kyatendewarirwa  nekisesetuka eggumba nerimenyekera ddala.

Kino kyekyantuukako police bweyali enzijja e  Naggalama okundeeta e Kiruddu oluvanyuma lwokulwalira mu Kaddukulu ka police. Lukululana ya puliisi eyali etugoberera yattomera ambulance mwennali, eggumba ery’enso y’evviivi erya kkono nerikosebwa, ate era neryongera okkosebwa mu Mayi w’omwaaka gunno. Kati kyekiretedde obukosefu bwennina okusajjuka. Tusasudde omuwendo munenne banange!  Nambooze bweyamalirizza obubaka bwe.

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!