Kyagulanyi Agabudde Banywanyibe Abayimbuddwa Ekyenkya

Bobi Wine, yasembezza abawagizibe mumakaage e Magere nabagabula ekyenkya. Bano okuli abaasooka okuyimbulwa nabano abazeeko bonna awamu 49 bakulembedwaamu Eddy Mutwe (Edward Ssebuufu) ne Nubian Li (Ali Buken).

Bobi Wine mukifanaanyi ekyawamu ne banne kukabaga keyabagabudde keyayise mu lufutifuti Breakfast Meeting

Newankubadde nga Kyagulanyi yabadde musanyufu okuddingana ne banne, yenyamidde nnyo oluvanyuma lwa banne okumulombojjera okujjonyesebwa, okulaba ennaku n’okutyobola eddembe lyaabwe ebibatusiddwaako okuviira ddala nga bakakwaatibwa.

Eddy Mutwe, eyayozezza nekummunye nga anyonyola ebikolobero ebyabakolwaako abajjaasi, yategezezza mukamawe nti kino batandikirawo okirozaako nga bakabaawula naye nga basiddwa mu Loole okubatwaala e Kasajjagirwa munkambi yamagye.

Essanyu eryokudamu okulya obutaala, buli abaddeko omusibe, alitenda.

Yategezezza nti ngabali mu Loole “omujjaasi bweyayagalanga okutuusa ekifo okudda awalala, olwo nga ajja kutabulira kubo nga abalinya kubibegabega nemitwe”!

Advertising Toyota Vigo

Yategezezza nti eddembe lwaabwe lyatyoboolwa ebitagambika nga batusiddwa mubuddukulu, newankubadde nga eteeka liragira omusibe okugyibwaako empingu nga ali mukaddukulu, bo empingu bazibalemezaako okumala ekiseera.

“Kyannaku nnyo nti oluvanyuma batulagira okutandika okweyambula buli omu nasigala bukunya nga bweyazaliibwa. Bwebatuuka kunze, bandagira nzigyemu boxer yange, nensooka nesisigiriza omu nakookinga emmundu nga bwangamba nti ekiddirira okimanyi. Nga mmaze okusigala obukunya, bandagira ngende nyimirire nga nkutamye, omu kubo nga asinziira emabega wange natandika okutigatiga obusajja bwange natyoboola eddembe lyange nakunakuna”

Ye Nubian Li agamba nti “embeera eri mu Kkomera e Kitalya mbi nnyo okutwaala ewala, akawunga kebaliisa abasibe kabi akasembayo, ensekere n’ebikku biruma abasibe ate nga kumpi buli omu yebaka ku munne. Bwoova mukifo wewebasse okugenda okweyamba ogenda okudda nga musibe munno abadde yebasse kumunne nga akafooko akatutte”.

Bano mubuvumu obwekitalo banyonyodde nti newankubadde nti bayise mukujjonyesebwa bwekutyo, bamattivu nti omulamwa ogwokulwanirira eddembe lyobuntu mu Ggwanga tebajja kuguvaako.

Kyagulanyi, yatutte ekiseera nga yekubisa ebifanaanyi nabuli omu kubanne bano era n’ebifanaanyi ebirala bingi ebyawamu.

Yabagumizza era nab’ebaza obutatiriirira banna Uganda bebewaayo okulwanirira.

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!