Katikkiro Wa Buganda Awezezza Emyaaka 8 Nga Akutte Ddamula
Enkya nja kuweeza emyaka 8 nga Katikkiro. Bino byetuyiseemu omwaka guno oguwedde.
Omwaka oguyise gubaddemu okusomoozebwa kwa Ssenyiga Kolona naye tufubye okulaba nti emirimo gy’Obwakabaka tegyiyimirira era tetwagoba bakozi wadde ng’ensaako zaabwe zakendeera.
Tubadde batetenkanya nga tukola emirimo gyaffe wadde ne mu budde bw’omuggalo gwa Ssenyiga Kolona.
CBS ne BBS Terefayina zasomesa abayizi ate nebawumuza abantu n’emidigiddo era emikutu gino gyaali misaale mu bino byombi.
Abantu ba Buganda basigadde bawagira enteekateeka z’Obwakabaka. Luwalo Lwaffe, Emipiira gy’Amasaza, Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka (obujoozi twabutunda ne bugwawo).
Bannabyabufuzi ababuli langi basobodde okwegazaanyiza e Mengo awatali kusosola. Ssaabasajja Kabaka waffe ffenna. Tujja kwongera okwaniriza bannabyabufuzi bonna kasita babeera nga bawa Kabaka ekitiibwa n’ennono zaffe.
Tuzimba amayumba e Ssentema, Kigo, Kasangati ne Makindye.
E Kasubi omulimo gweyongedde okutambula.
Twongedde okuteeka ebiwumbe by’Ebika ku Kabaka Anjagala.
Emikago, okujjanjaba abantu, eby’enjigiriza n’ebirala bingi bigenze mu maaso mu mwaka gwange ogw’obwakatikkiro.