Katikkiro Gano Yazinnye Fundukululu

Abaganda Mu America Baacamudde Katikkiro

Uganda Today: Katikkiro wa Buganda kati mu America nga alambula abantu ba Ssaabasajja abawangalira mu Nsi eyo, Yazinnye amazina agafindukululu nga Abaganda bamulaze Essanyu egitirivu.

Katikkiro n’abakungu ba Buganda nga bali ku Kampuni ya Cascade Ekola Kaawa mu America Seattle.

Katikkiro Yalambudde Kampuni Ekola Kaawa E Seattle

Katikkiro, Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga yasisinkanye abakulira kkampuni enkozi ya kaawa, eya Cascade Coffee, e Seattle, mu Amerika, mu kaweefube ow’okufuna bannamikago, abakwatirako Obwakabaka ku nteekaterka ya mmwanyi terimba.

Katikkiro yabadde ne Baminisita; Ababaka ba Kabaka: ow’e Seattle n’e Bungereza, n’abakungu okuva e Mengo, baayaniriziddwa akulira kkampuni eno, Omw. Greg Thayer (muzungu mu kifaananyi), naabalambuza emirimu egy’enjawulo gye bakola.

Advertising Toyota Vigo

Yasiimye ebikolebwa n’agamba nti okubangawo enkolagana wakati wa kkampuni eno n’Obwakabaka, gujja kuba mukisa munene nnyo eri Buganda ne Uganda okutwalira awamu ogw’okutumbula ekirime ky’emmwanyi.

Greg Thayer, ku lwa Cascade Coffee, assuubizza okukolagana n’Obwakabaka okutumbula ekirime ky’emmwanyi.

 

 

Publisher

Toyota Vigo

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!