Emizannyo Gy’ebika Bya Baganda Mu Bungereza Gitandika Mu Gwamunaana
Empaka zino Zijja Kuba Za Lunnaku Lumu Sunday Nga 27 Ogw'omunaana
Uganda Today: Abaganda abali e Bungereza nga bakulemberwaamu Omukungu Wa Kabaka e Bungereza mwami Fred Ssemugera bateeseteese empaka z’emizannyo egiwerako era nga okuvuganya kugendera mu Bika ebiri mu Buganda.
Emizannyo gy’Ebika Bya Baganda e Bungereza 2023
Sunday 27th August
Gijja kubeera ku
New River Sports Centre
White Hart Lane
Wood Green
London N22 5QW
1.30pm – 7.30pm
Emisinde gya 100m, 200m, 400m, okuddukira mu kkutiya, Relays, Long ne High jump, okukasuka akazito, okutambula,
5 -a-side football, Table Tennis, okusika omugwa n’omweso Omuganda. Abato, abavubuka n’abakulu.
Ebisale
Emyaka 0 – 5 Bwereere
Emyaka 6 – 17 £5
Emyaka 18+ £10
Jjangu olwanirire era owagire ekika kyo oleete n’abaana abato n’abakulu balabe ku b’ekika kyabwe abalala n’okumanya ebika byaffe ebirala.
Osabibwa n’obuwombeefu okutegeeza ku balala so si ba Kika kyo bokka.
Weebale nnyo.
Fred Ssemugera
07956 455 133