Emisinde Gy’amazaalibwa Ga Kabaka Kekabonero Akagatta Buli Muntu
Nambula Schools +256 772 388 200 Ne Birmingham Uganda Investment Convention 23-24 August 2024, At Burlington MacDonald Hotel/ Burlington Arcade, Registration: Individual 300 Pounds, Exhibition: 500 Pounds, UK Residents Free Entry: 50 Pounds Payable For Dinner. Inquiries: +44 74 770 38 588 Text Or WhatsApp. Bano Baayozayozizza Ssaabasajja Mungeri Eyanjawuloa
Uganda Today Edition: Emisinde gy’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka gemakula ga Buganda
Buli Mwaka mumatulutulu abantu ba Ssaabasajja mu Buganda ne Munsi yonna, babugaana essanyu era nebajjula obwagazi nemitima gyaabwe negijjula okuyayaana okulaba nga Kabaka waabwe nga ajjaguza olwokuweza omwaka omulala nga alamula Obuganda. Ebijaguzo bino bituuka ku ntikko ku lunnaku olwa nga 13 Kafuumuulampawu.
Naye buli lwa Sande olukulembera olunnaku olwe 13 Kafuumuulampawu, Obwakabaka bwa Buganda buteekateeka emisinde egy’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka. Egy’omwaka guno gyakubeerawo nga 07.04.2024 mu Lubiri lwa Kabaka Emmengo. Era emisinde gino nga bulijjo, gisuubirwa okusimbulwa Ssaabasajja yenyinni.
Nambula Schools bano bo baweerezza Ssaabasajja obubaka obwenjawulo mu kujaguza kuno
Okumala emyaaka n’ebisiibo Buganda ebadde ejjinja ly’omunsonda mu byafaayo bya Uganda eby’obuwangwa nga birukiddwa munteekateeka y’enfuga ye Ggwanga. Olunnaku lwa sande olusooka mu Zzooba lwa Kafuumuulampawu, ekyokujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja, kyekyomuwendo era akalombolombo akagatta ebikumi nebikumi bya bantu abakungaana okudduka emisinde nga bamaze okugula emijoozi egivaamu ensiimbi nezijjanjaba abantu ba Ssaabasajja abalina obulwadde bwa Nalubiri, Ekikulukuto mu bakyala n’endwadde ya Mukennenya. Kano kekabonero akoobumu, n’okwenyumiriza era emisinde negigatta buli omu okuva mu bibiina by’obufuzi ebyenjawulo.
Birmingham Uganda Investment Convention 23-24 August 2024, at Burlington MacDonald Hotel/ Burlington Arcade, Registration: Individual 300 pounds, Exhibition: 500 pounds, UK residents free entry: 50 pounds payable for dinner. Inquiries: +44 74 770 38 588 text or WhatsApp
Nga busaasaana, enguudo zomu Kampala zonna zibuna langi emyuufu . Abaddusi ababuli ngeri baba bambadde emijoozi egiriko akabonero k’Obwakabaka bwa Buganda nga bawagira Obwakabaka obuterekaamu. Ate Ssi bantu babulijjo bokka, wabula bannabyabufuzi, abakungu ba gavumenti eyawakati, n’ebitongole ebyabuli kika, beetaba mu kuvugirira omukolo gw’emisinde gino . Guno gwe mukolo ogukyasiinga okukungaanya abantu mu Uganda.
Mubavugirizi buli mwaka bakulemberwa omulembeze w’Eggwanga, abakulembeze abalala nebitongole ebyenjawulo nga battadde eby’obuufuzi ebyawulayawula mu bantu ebbali, bonna benyigira mukuvugirira enteekateeka y’emisinde gino.
Nga ojjeeko okugatta bannabyabuufuzi, emisinde gya Kabaka muddaala eri bannamakolero n’abyobusuubuzi abalala okkuddiza ku bantu abagula ebintu byaabwe nga bavugirira emisinde gya Kabaka. Bonna batimba ebipande ebiranga ebyamaguzi byaabwe ku mukolo guno.
Emisinde egisimbulwa Ssaabasajja yenyinni gibeeramu ebisanyusa ebyabuli ngeri ate abo ababa bataze , babemberera ku Nguudo nga bawagira abaddusi.
Emisinde gya Kabaka gino, kabonero akalaga ki, Buganda kyeeri mukuteekateeka eby’obuufuzi bya Uganda okuviira ddala emabega mubyafaayo by’obuwangwa bwa Buganda empisa n’obulombolombo bya baganda era nga byebikwatiridde omumuli gwa Uganda eyawamu.
Omuteesiteesi owenkalakkalira mu Kitongole ekivunanyizibwa ku byobusuubuzi mu Gavument yawakati Geraldine Busuulwa Ssali teyalutumidde mwana era bwaati bweyaweze nga aweebwa emijoozi ku lw’ekitongolekye