Embalirira Y’obwakabaka Bwa Buganda Esomeddwa
Okulakulanya Abantu Kuteekeddwa Ku Mwanjo
Embalirira Ya Buganda Eyisiddwa
Olukiiko lwa Buganda luyisizza Embalirira ya buwumbi 157.8 Okutumbula embeera z’abantu kuteekeddwako omutemwa gwa 31,781,061,417/=; eby’obulamu 4,275,300,000/=, eby’obulimi 2,200,330,864/=, Obuwangwa n’ennono 3,122,220,000/=, eby’okusiga ensimbi 22,065,000,000/=, Obwegassi 31,781,015,417/=, Bulungibwansi 3,182,804,934, eby’emizannyo n’abavubuka 2,029,075,199/=, okunnyikiza obukulembeze mu mirimu gy’Obwakabaka 7,344,442,629/=.
Omuwanika alambuludde ne ku bikoleddwa mu mwaka omukadde; Okutumbula eby’obulamu, okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi nga okusereka Muzibu-Azaala- Mpanga kuwedde, okutumbula eby’enjigiriza; okusikiriza bannamikago n’ebirala bingi.