Ebigambo Bya Ssekabaka Sir. Edward Muteesa Nga Uganda Efuna Obwetwaaze
Uganda Teryaali Ttwale Lya Bangereza Wabula Bwaali Bukuumi
Nga tuli mu mweezi guno mwetujjukirira, Obwetwaaze obwatukiibwaako nga tuva mu kukulemberwa Bungereza, eyatukulemberera ddala okumala emyaaka 68, tusaanye twejjukannye ku bintu ebimu ebikulu ebyaaliwo.
Buganda, ensi Namugereka gyeyatondeka mu massekati ge Ggwanga eryafuulibwa Uganda nga ebitundu eby’enjawulo omwaali Acholi, Busoga, Bunyoro, Bukedi, Kigezi, Ankore, Tooro, Lango bigigattiddwaako, Abangereza nga bayita mu kukaka Ssekabaka Mwanga Basammula Ekkere okkussa omukono ku ndagaano ewaayo obuyinza ku nfuga y’ensiye, batwaala obuyinza bwokufuga ensi gyebatuuma Uganda nga erinnya lino liva mu Buganda.
Abazungu nga bayita mu kubunyisa eddini ku Ssemazinga Africa, bakizuula nti Africa yali ensi bwaguuga eyali efumbekeddemu ebyobugaga ebyomuttaka n’ebibira n’ebisolo ebyomunsiko ebiyiyittirivu, kino kyawawaliriza abazungu okuva ewaabwe bayingire Africa befunire kubyobugagga bino.
Kino nno kyaleetawo akatuibagiro mu Bazungu abenjawulo mu kukayanira ani aba atwaala tundutundutundu ki ku Africa kyebayita “Scramble for Africa” ekivunulwa nti okukayanira Africa.
Wano mu Uganda nga bwetunnyonyodde waggulu twatwalibwa Abangereza ate Tanzania netwaalibwa Abapotigo. Kisaannye kijjukirwe nti nga abazungu bano befunza ensi ezenjawulo mu Africa, tebasanga bukulembeeze bwansuso era obwenkizo mu kukulembera abantu baabwe nga bwebasaanga wano mu Bwakabaka bwa Buganda.
Kino okusinga byonna, kyabawaliriza okusikriza n’okukolagana obulungi no Bwakabaka bwa Buganda okugatta ebitundu ebirala byetwayogeddeko waggulu ku Buganda alwo balyokke basobole okubikulemberera awamu nga bakozesa enfuga ya Baganda.
Kino kyekinnyonyola lwaaki Uganda Teryaali Ttwale lya Bangereza nga bwegwaali e Kenya wabula bwaali bukuumi (protectorate) obwatwaalira ddala emyaaka kumpi 70 okuva mu 1894 okutuuka mu 1962 mukulukusabitungotungo. Kulunnaku olwo, Ssekabaka Sir. Edward Muteesa eyafuuka omukulembeze (president) wa Uganda eyawamu eyasooka yayogera bwaati:
Okwogera kwa Kabaka Muteesa II e Kololo ku lunaku lw’ameefuga 09/10/1962
Bannayuganda bannange mwenna,Kinajjukirwanga nti, olunaku olwa nga 9 Mukulukusa Bitungotungo 1884, lwe lunaku Ssekabaka Walugembe Muteesa I, omusaale wa Uganda Empya, lwe yaggya omukono mu ngabo. Yagalamizibwa mu Lubiri lwe e Nnabulagala, Kasubi nga 25 Mukulukusa Bitungotungo 1884.
Noolwekyo mpulira muli okwenyumiriza okw’ensusso olw’okuba nga banzibulamu amannya ga jjajjange oyo era nga nsobodde n’okubeerawo ku lunaku luno Abangereza lwe batuddizza obwetwaze bwaffe oluvannyuma lw’okutufugira emyaka egiwerera ddala 68.
Mu biro ebyo tulabiddemu ebizibu bingi, nate era mu kiseera kyekimu, mubaddemu n’ebitusanyusizza bingi. Kyokka twebaza Katonda olw’omukwano gwaffe, ekisa, wamu n’ebyo Abaminsane bye baatukolera okukuza ensi yaffe n’eya Uganda.
Kaakano nga bwe tumaze okufuna obwetwaze, mbakubiriza okussa essira mu bintu byonna bye munaakolanga, mulyoke muleetere Obwakabaka bwaffe, wamu n’ensi yaffe Uganda erinnya eddungi eri abantu bonna. Enjawulo mu mawanga, mu ddiini era ne mu langi, zireme okutwawukanyanga.
Katonda omulungi ow’ekisa, beera Uganda,
Sir Col. Edward Muteesa II
Kabaka
Byavvuunulibwa Robert Nviiri
_2008_