Bobi Wine Yekkokola Bikwekweeto Ku Boda Boda Mu Kampala
Boda Boda Ezisoba Mu 6000 Ziboyeddwa
Okutuusa olwajjo, bodaboda ezisoba mu 6000 zabadde ziboyeddwa pulisi mu bikwekweeto byerimu okufuuza abavuzi ba bodaboda abatalina bisanyizo kuvuga bodaboda. Kyagulanyi yenyamidde nnyo era agamba nti “bodaboda zino ezawambiddwa zivugibwa bamufuna mpola mu Kampala abannoonya emmere yaleero ate nga kyettujje tuve ku muggalo gwa COVID-19 ogwakosa ebyenfuna yabannansi negukattaga”.
Awatali kuweebwa kirala kyakkola, abantu bano bonna bakyayinza okudda mu bummenyi bw’amateeka okusobola okuyimirizaayo amaka gaabwe. Kino bulijjo kyekiva kunkola ya gavumenti okukola ebikwekweeto eby’amaanyi nga kino mungeri eya vulugu essa abakola omulimu guno mumattiga agawenyeza eby’enfuna by’eggwanga.
Tummanyi bulungi omugaso gw’abasabaaze okutambulira mu mbeera ennungi naye ate, tusuubira nti waliwo ebigendererwa ebikkusike, kubanga tukimanyi bulungi nti ekigendererwa kya gavumenti kwekugoba bodaboda mu kibuga Kampala. Kyagulanyi bweyagasseeko.
Ekisinga obukulu tukimanyi bulungi nti gavumenti eno teyettanira kukwaasa mateeka wabula okutondaawo emiwaatwa aba puliisi mwebanyagira abantu nga babajjako ensimbi mukulya enguzi kubavuzi ba bodaboda. ebintu nga bino gavumenti zabakyala kimpadde byezikola. Kyagulanyi nga ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter bweyategezezza.
Wabula Chipa Adams yayanukudde Kyagulanyi namugamba nti “puliisi bweeba yakutte abavuzi bano mu bummenyi bw’amateeka, balina okukimanya nti guluma yaguzza enjoka teruma ntumbwe. obufuzi obwamateeka bwoyaayannira bulijjo mwami Pulezidenti. abantubo bo babuliirire bakwaate amateeka.”