Bino Museveni Yabyogera: Akabwa Akasiru Kaboggorera Enjovu
Obutambi buno mu ggulire lino bunokoddwaayo nga ebimu ku bikolwa bya pulezidenti Museveni byazze akola nga biraga obutali bwesimbu mu bukulembeze bwe Ggwanga

Uganda Leero: Wulira Bino: Bino Museveni Yabyogera
Pulezindenti Museveni singa aba atuusizza 2026 nga akyaali pulezidenti wa Uganda, ajja kuba nga awezezza emyaka amakumi ano (40) nga yakulembera e Ggwanga lino, okuva mu Gattonya nga 26, 1986.
Museveni yawamba obuyinza okuva ku Tito Okello Lutwa, eyali yakawamba obuyinza nga abujja ku gavumenti ya Obote ey’okubiri mu 1985. Museveni yawamba obuyinza oluvanyuma lwokuwakula olutalo ku gavumenti ya Obote nga agiranga okubba akalulu akaategekebwa Obote mu 1980, Museveni mweyakweberera. Olutalo luno lwabumbujjira mu Luweero okumala emyaka etaano.
Nga amaze okuwamba obuyinza, Musveni yalayira naasuubiza bannansi enkyuukakyuuka ez’omuggundu ezaali zitalabwaangako mu Uganda (fundamental Change). Yateekawo enyiingo 10 kweyali agenda okutambuliza e Ggwanga (10 point programme). Enteekateeka eno, Museveni yagitambulirako emyaaka mitono egyasooka nagivaako, naatandika okutambuliza e Ggwanga ku nkola engenderere okulemera mu buyinza nookutuusa kati.
Wuliriza Obutambi Buno
Obutambi buno obuwunikiriza, bulaga enkola ezenjawulo Museveni zeyagunjaawo okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye ekyokulemera mu buyinza nga affufugaza buli anaagezaangako okumuvuganya.
Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis
Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
Website: https://www.ugandatoday.co.ug
WhatsApp: +256 702 239 337
X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews
Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.