Amin Yali Yasasula Abayindi Nga Tannabagoba
2019 Kyanjo Yayasanguza Nalumuriza Moses Ali Okuba Nti Yali Amaanyi Akawunta Okwatekebwa Ensimbi
Uganda Today: Hajji Hussein Kyanjo- kati omugeenzi, mu 2019, nga yali yamala dda okuzuuliibwaamu obulwadde mu 2011 obwaali butamusobozesa kwogera, era nga yali oyogerera ku Bbatule yamasanyalaze, yayasanguza ekyaama kino.
Kyanjo nga ayogerera ku emu ku Ladiyo wano mu Ggwanga yasaba bannanyinni Ladiyo bayite Moses AliĀ aweeyo obujulizi ku nsonga y’Abayindi okusasulwa.
Museveni Okuddiza Abayindi Ebyaali Byabasasulwa Kyaava Kuki?
Kyanjo Yalumiriza Pulezidenti Museveni okuba nti Abayindi bamuwa ekyoja mumiro nabaddiza ebintu Ebyaali bimaze okusasulwa.
Wuliriza akatambi ka Kyanjo ku nsonga eno
“Obusajja bukirana”, naye eyali omubaka wa Makindye West yali muntu munna byabufuzi ow’embala etasangikasangika era nga ayogera kaati ne Nyenje nezigwa.
Olumu nga ali ku CBS radio nga 2005 tannatuuka, yalabula bannabyabufuzi abaali bakitiza ne Museveni nti ekiseera kyaali kijja kutuuka aba NRM benyinni Museveni atandike okubanyiga ebituliro, era okwo okulagula kwe tekwaagwa butaka, 2005 bweyatuuka nga ayagala okujja ekkomo ku bisanja, ne munywanyiiwe okuva mu buto, kati omugeenzi Eriya Kategaya teyalutonda namugoba awamu ne Jaberi Biddandi Ssali, Miria Matembe nabalala.
Wano nno banna Uganda webandirabukidde nebammanya nti Museveni ssi wa muniino. Ebiriwo byonna kati byaava kukuba nti baalemwa okumunaabira mu maaso mukiseera ekyo.