Abateberezebwa Okuba Ababbi Baakwattiddwa Mu Mubikwekweeto Bya NEMA
Baasangiddwa Ne Namba Za Motoka, Ne Endaga Muntu Ebitali Bimu
Poliisi n’ekitongole ekivunanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’ensi ekya (NEMA), kati abali mubikwekweeto byokugumbulula abantu abatali bangeri zimu, abesenza n’okukolera mu Ntobazi, wano mu Kampala n’ebitundu ebiriranyeewo, bazinzeeko omwami n’omukyala bebasanze mu Lubigi n’ebintu byabantu abalala biingi nga muno, mulimu, endaga muntu, namba za motoka ne kalonda w’ebintu ebirala biingi ebitali byaabwe.
Terwane Akimu, Ow’emyaka 40, ne mukyalawe Nayebare Rahuma bebasangiddwa n’ebintu bino mu kayumba kaabwe akamenyeddwa.
Abakwaate bano kati bakuumirwa ku poliisi e Nabweru.
Tuwereze ebirowoozo byo byolina ku ggulire lino ku WhatsApp +256 702 239 337 +256 414 500 640 oba Email ugandatodayedition@gmail.com