Abaana N’abazzukulu Ba Eyali Omubaka Wa Kisolo Mu Bugerere Mu Lusirika Lwokumanyagana
Isaaka Ssekirevu Lutaaya Salongo Yeyali Omubaka Wa Kisolo Mu Ssaza Lye Bugerere Okutuuka Mu 1993.
Uganda Today: Abaana n’abazzukulu ba Isaaka Ssekirevu Lutaaya Salongo, nga ono yeyali omubaka wa Kisolo mu Kika ky’Engonge mu Ssaza lya Ssaabasajja erye Bugerere okutuusa nga 08.07.1993, bazze mu Mbuga ya Kitaabwe gyeyakuba e Tente Bugerere mu 1942 nga atumiddwa Ssekabaka Muteesa π ku Ggombolola ye Bbaale okuwereza nga Kkalani.
Bazzukulu ba Isaaka Ssekirevu Salongo nga basanyusa bakadde baabwe n’akazanyo akalaga omugaso gw’okumanyagana n’okukolera awamu okusobola kuwangula ensi n’okuyimirirawo. Akazanyo kalaga nti obwesige tebuli ku ntebe wabula buli mukukwaatagana n’obumu.
Omukolo gwasoose n’okusaba okwakulembeddwaamu omubulizi we Ttente Church of Uganda Mwami Irumba nga ayambibwaako omubulizi we Kkanisa ye Namagabi Kayunga Ssebbowa Erasto. Ssentebe wa Ntenjeru Ward A mwami Ssemakula Edward naye teyalutumidde mwana.
Abaana ba Isaaka Ssekirevu enkuyege bezikyakubira enduulu Mary Nakiganda Buwanjaza, Yusuf Bbalagadde Wamala Musisi, Eseza Balambi Tusuubira, Wasswa Godfrey Kibugo Kiganda ne Christopher Muganga Kato baakulembeddemu abaana baabwe okusabirwa nga bajjukira emirimu egy’ettendo egyakolebwa mukadde waabwe.
Ssekirevu yazaalibwa mu 1909 e Katabona, Kisitala-Kibengo Bulemeezi ekiri mu Luweero disitulikit kati. Yali mutabani wa William Bbalagadde Musitala Kakenga nga ono yali Musajja wa Kabaka eyamulamulirangako omuluka gwe Kibengo Bulemeezi.
Musitala Kakenga wakati mu ntalo ez’eddini ezabumbujjira mu Buganda ne Bunyoro, wakati wa ba Yisiramu, Abakatuliki n’aba polotestante oluvanyuma lwa 1879, yali Mugabe we gye ly’abakulisitayo mu lutalo olwakomekerezebwa e Kijjungute mu Bunyoro.
Mulutalo luno, omugabe waba Yisiramu Muguluma, yali awambye Muttowe Philip Mukuma era nga attayiriddwa naaweebwa n’erinnya lya Asane. Musitala yakeera nnyo naazindukiriza Muguluma eyali attuziddwa ku Kiswa okusala ebikwekweeto byolutalo naamukuba essasi ku mutwe eryamuttirawo nga akkozesa emundu emmenya. Era awo olutalo werwakoma. Muguluma yali alwana bwezizingirire asobole okudda e Buganda oba oli awo asobole okwewangamya nga Kabaka.
Nga Ssekabaka Kalema eyali atuuziiddwa ku Namulondo nga amaze okukisa omukono olw’obulwadde bwa Kawaali, Ssekabaka Mwanga Bassamula Ekkere era eyali azaalibwa omu kuba banyina ba Musitala Namasole Bagalayaze, yamugemulira sikweya milo z’ettaka 9 mu Kisitala nga amwebaza olw’kuwangula olutalo era naaweebwa ne erinnya erya Kakenga.
Okusoma Kwa Isaaka Ssekirevu
Yali yeddira Ngonge nga ava mu Lunyiriri lwa Makabugo, mu Mutuba gwa Mukuma e Sempa. Yasomera Kibengo gyeyava neyongerayo e Wampeewo Ntakke gyeyamalira emisomo gye, Ssekabaka Sir Edward Muteesa namulengera naamutuma e Bugerere ate n’Omukulu w’eKika ky’Engonge namwongerako ekyokuba omubaka wa Kisolo mu Ssaza lino.
Abaana Ba Isaaka Ssekirevu Lutaaya Salongo
Mary Nakiganda Buwanjaza, Florence Sarah Nakirigya Tumweyigaanya, Joseph Wamala Bbalagadde Musisi, Lydia Cissy Nabachwa Buganda, Justine Ruth Najjemba Alimanya, Norah Nakintu Lwampera, Gregory Ssensonga Kikujjuko, Eseza Balambi Tusuubira, Godfrey Kibugo Kiganda Wasswa, Christopher Muganga Kato ne Fredrick Ssekirevu Kizza Baziwandiika.