Kooti Essalidde Christopher Okello Onyum Omusango gwa Kalabba
Omulamuzi era aweze nga amateeka bwegajja okulondoola abo bonna Okello beyakisa ate nga baali mabega wa lukwe lw'okutta abaana.


UgandaLeero: Kooti Essalidde Christopher Okello Onyum Omusango gwa Kalabba
Omulamuzi Alice Komuhangi, abadde awulira omusango guno okuviira ddala nga 9, 04, 2026 assalidde omuwawabirwa Christopher Okello Onyum awanikibwe ku Kalabba nga asala omusango ogwamuggulwaako ogw’okutta abaana abana e Ggaba.
Omulamuzi ayasanguzza nti Okello tabaddeko nakwenyamira kwonna eri abazadde ba baana okuli n’omukyala omu eyazirika nga awa obujulizi ku kuttibwa kw’omwaanawe. Abantu ababadde mu Kooti bajjaganyiza olw’okusalawo kw’omulamuzi kuno.
@cbsfm Christopher Okello Onyum asindikiddwa ku kalabba, laba essanyu ly’Abatuuze. #fyp #fyp #fyp
Omulamuzi era aweze nga amateeka bwegajja okulondoola abo bonna Okello beyakisa ate nga baali mabega wa lukwe lw’okutta abaana. bano omulamuzi agambye nti baakuwenjebwa nabo babitebye mu Kooti.
Omulamuzi agaanyi okwewozaako kwa Okello nti alina ekikyaamu ku mutwe naagamba nti Okello ono singa yalina ekikyaamu ku bwongo, teyandisobodde kugenda naapangisa motoka era neyevuga okutuuka e Ggaba gyeyattira abaana.
#UgandaLeero #UgandaToday #AliceKomuhangi #ChristopherOkelloOnyum #Ggaba #Kalabba




