Kyagulanyi Emisinde Gya Kabaka Gyamusanze Bungereza
Wano nga Kyagulanyi alaga banne nga bwasobola okukuba Dduyiro ezimanyiddwa nga Press Ups . Kino yakikoze emirundi nsaanvu nga ayozayoza Ssaabasajja okutuuka ku mazaalibwage agomulundi ogwe nsaanvu
Uganda Leero: Kyagulanyi Emisinde Gya Kabaka Gyamusanze Bungereza
Newankubadde nga ekibiina kyakulembera ekya NUP, kyaagula emijoozi egyokuddukiramu gya bukadde 20, naye ye Robert Kyagulanyi Ssentamu omukulembeze waakyo teyasobodde kubaawo mu Lubiri e Mmengo nga Ssaabasajja asimbula enkuyanja y’abantu abagumidde enkuba eyabadde efuddemba nebeetaba mu misinde egitegekebwa buli mwaka okujjaguza amazaalibwa g’omuntanda.
Abantu ba Ssaabasajja abakunukiriza mu mitwaalo ekkumi n’ebiri bebasubirwa okuba nti betabye mu misinde gino. Olw’obuvunaanyizibwa obwalobera wa Nyindo okweggala, ne Kyagulanyi tebwamusozesezza kuba mu Lubiri.
Naye kino tekyamulobedde kulaga buwulize eri Beene. Kyagulanyi teyalinde misinde gyategekeddwa banto ba Ssaabasajja abe Bungereza ye yatandikiddewo nalaga Ensi nga ye Bwaali omusajja wa Kabaka atalimutiririra. Awngaale nnyo Kabaka waffe.
Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis
Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
Website: https://www.ugandatoday.co.ug
WhatsApp: +256 702 239 337
X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews (Uganda
Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country