Katikkiro Ayatudde Abagala Okusuula Gavumenti
Wuliriza Akatambi Kano

Uganda Today Edition: Katikkiro ayatudde Abagala Okusuula Gavumenti
Katikkiro wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga, ayatulidde abo bonna abefunyiridde mukukola ebikolobero eri bannansi nga bawamba, batulugunnya, basiba n’okutunttuza bannansi okubamalako eddembe lyaabwe eribaweebwa Ssemateeka.
Omuntu ayagala okusuula gavumenti yakola ebikolwa ebikyayiisa gavumenti, buli awa ebiragiro okukwata abantu nebatulugunyizibwa, yemulabe wa avumenti namba emu.
Obwakabaka bwa Buganda busaba okuwamba abantu kukomezebwe, bwewabaawo amammenyi ba’mateeka basana banonyerezebweeko olwo oluvanyuma balyoke bakwaatibwe bavunanibwe mu Mbuga za gavumenti.
Katikkiro yannokoddeyo omuvubuka Ssegawa eyatulugunyizibwa nga bamujjamu enjala, era najjukiza abantu nti ebikolwa nga bino byakolebwa ku mirembe gya Amin ne Obote era byaakyayisa zi gavumenti ezo bubi nnyo.
Published by Uganda Today, your trusted source for news and analysis
📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—Reachout for a banner link on www.ugandatoday.co.ug