Site icon Uganda Today

Zzaake Awakanyizza Okuwambibwa Kwa Motokaye

Okusinziira kukiwandiiko ekyafulumiziddwa omwogezi wa Palamenti (Chris Obore), kirungamya nti Palamenti yawaliriziddwa okugenda mu Maka g’Omubaka Zzaake nebowa motoka ya Palamenti eyamuweebwa nga Kamisona wa Palamenti, olwokuba, Palamenti yamugoba kubwa Kamisona ate ye nagaana okuzza motoka eno.

Obore, yayongeddeko Kiraka wa Palamenti yawandikiira omubaka Zzaake enfunda eziwera nga amusaba azze motoka ya gavumenti, naye Zzaake neyerema.

“Puliisi ya Palamenti kulwokuna nga 12.01.2023, nga ekolera ku biragiro bya Kiraka wa Palamenti yaboye motoka okuva mu Maka g’Omubaka motoka Reg.Namba UG0333H eya Palamenti Kamisona.

Omubaka Zzaake Francis Butebi eyaggibwa mukifo kya Kamisona wa Palamenti. Ekintu kino kyamuwaliriza okuwaaba omusango mu Kooti nga awakanya kino. Omusango tegunasalwa.

Zzaake Byayogera Kunsonga Eno

Nga ayita mukiwandiiko kyeyayissizza ku mukutu ggwe ogwa muggatta bantu, Zzaake agamba bwaati:

“Jjo olweggulo, abaserikale nga babagalidde emundu, era nga bakolera kubiragiro bya Kiraka wa Palamenti baluumbye Amaka gange nebowa motoka motoka eyamuweebwa okukola omulimu gwa Kamisona wa Palamenti.

Naye ate nga bwemujjukira, nga mpita mumusango gwa Ssemateeka numba 06 ogwa 2022, nawakannya obummenyi Bw’amateeka obwokolebwa okunzijja mu kifo ekyo. Era ekintu kyonna ekikolebwa okunzijako ebintu byonna byenkozesa mu yafeesi eyo, buba bummenyi bw’amateeka. Nga omusango guwulirwa, bannamateeka ba Palamenti beyama okugendera ku mitendera gya Kooti n’obutattaganya kintu kyonna nga omusango gukyageenda mumaaso. N’olwekyo, kyenyamizza nti mukifo kyokulinda ensalawo ya Kooti, ob’obuyinza mu Palamenti bazze mu kumenya mateeka.
Ekikolwa kyaabwe kino olunnaku lwa jjo, bulumbaganyi obwekijjoozi eri enfuga egoberera amateeka. Kino kiraga nate nti ebitongole bya bya Gavumenti byonna tebikyagiberera nfuga ya mateeka.
Nkyebuuza ku ba Puliida nange kuki kyenzizaako”. Zzaake bweyakomekerezza obubakabwe.

Exit mobile version