Wuliriza Akatambi: Ekiretera Omwana Okwewaggula N’obutawuliriza Kubuulirirwa Kwa Muzadde

Kino Kiva Ku Bintu Bisatu

Omuwala ono Kaggwa ensonyi eyategerekako erya Nansubuga yanaaba ensonyi mu maaso naateegeeza Nyina nga ye bweyalina emyaaka 18 so ssi 16 nga nyina bweyali alumiriza. Nansubuga yagamba Nyina nti takyayagala kusoma nti ye yali ayagala kufumbirwa

UgandaToday:UgandaLeero:  Ekiretera Omwana Okwewaggula N’obutawuliriza Kubuulirirwa Kwa Muzadde

Katwere Musajjaakawa

Bya Katwere Musajjaakaawa

Omutaka Katwere Musajjaakawa anynyola ensoonga satu ezivaaka abaana mu Maka naddala abawala obutawuliriza bazadde. Katwere ateeka essira ku nkuza y’Omwana mu Maka, nga simuteeketeeke, tabuulirirwa, era tayigirizibwa okwebuuza ku bazadde be;
 Amasomero obutabaamu entegeka okugunjula Abaana, okufuga obulamu bwabwe, okwetaasa n’okukuuma obulamu bwabwe;
 Abazadde mu byalo okulemererwa okuba obumu okutendeka abaana ku mbeera z’okusalawo byebatekeddwa okukola okuzimba obulamu bwaabwe obw’ebiseera ebyomumaaso.
Wuliriza akatambi k’omwana muwala ono eyafuukira Nyina ekyenena nakawangamula nga ye bweyali akooye okusoma nga ayagala agende afumbirwe.
Katwere Musajjaakaawa
#KatwereMusajjaakawa #UgandaLeero #UgandaToday #OperaNewsFeeds #PhoenixNewsFeeds

Publisher

Toyota Vigo
Back to top button
error: Content is protected !!