Uganda LeeroWulira Bino

NTV Eraze Ebitasoboka Museveni Byeyasuubizza Ab’eTeso

Wuliriza Akatambi Akanyonyola Ebintu Ebitasoboka.

Museveni nga Ali e Teso, yeekubya ekifanaanyi n’omukyala Florence Asio, eyali yeesimbye ku kifo ky’omubaka omukyala akikirira disitulikiti ye Bukedea. Museveni yategeeza ab’Eteso nti NUP yali ekoze kyabutaliimu okusimbawo omubaka okuvuganya ne Anita Among, ate nga omuwala ono yalina Oluganda ku Among.
Kino nno, kisaabulula nnyo enkola ya demokulasiya okutwaala ensonga y’owuluganda obutavuganya ku mutendera gwonna ogw’ebyobufuzi.

UgandaLeero: NTV Eraze Ebitasoboka Museveni Byeyasuubizza Ab’eTeso

Nga ali mu kuwenja akalulu mu bitundu bye Teso, Pulezidenti Museveni yasuubiza abantu be Teso, Acholi, ne Lango abaafiirwa Ente zaabwe mu lutalo lwa Konyi.

NTV yalaze nti ente etaano taano Museveni zeyasuubizza abatu bwaaba wakutuukiriza kisuubizo kino, kyetaagisa ebitundu 20% ku mbalilira ye Ggwanga yonna. Aba NTV bagamba nti nga bwazze asuubiza emyaka kati abiri okuva emabega nga tewali kyaali kikoleddwa buno bulimba obwenkukunala banna Uganda bwebatasaanye kweyinulirako, kubanga bulimba bwereere.

Wuliriza Akatambi kano.

 

Publisher

Uganda Today

Published by Uganda Today, your trusted source for news and analysis. Let’s help you grow your brand and keep your audience informed.


Partner with Uganda Today where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.


Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk


WhatsApp: +256 702 239 337


X (formerly Twitter): @uganda43443 |


Email: ugandatodayedition@gmail.com

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!