Site icon Uganda Today

Uganda Cranes Yasambye Empaka Ez’amaanyi Ne South Africa Bafana Bafana Mu Kwolifaya Za AFCON

Omupiira Gwa Uganda Cranes ne Bafana Bafana eya South Africa gwaawedde maliri

Uganda Leero: Uganda Cranes Yasambye Empaka Ez’amaanyi Ne South Africa Bafana Bafana mu Kwolifaya Za AFCON

Mu mpaka ezabaddewo eggulo mu kisaawe kya Orlando Stadium e South Africa, ttiimu ya Uganda Cranes yategeerekese olw’okulaga omutindo ogw’amaanyi mu mupiira gwa kwolifaya za African Cup of Nations (AFCON) nga bakwataganye ne Bafana Bafana eya South Africa. Essanyu ly’okuwangula tebalifunye, oluvanyuma lwokukubwa goolo e’yekyenkayi eyeteebeddwa bafana bafana mu ddakiika eyakazizigizi eyabadde esembayo ddifiri amale omupiira. Naye baawangudde ekitiibwa olw’obuzira obwateekeddwa mu mutindo ogw’omupiira.

Bafana Bafana baateebye goolo yaabwe mu ddakiika 10 mu kitundu ky’omuzanyo ekisooka era bakimazeeko nga bakulembedde Uganda Cranes. Mukuddingana mu ddakiika 5 ezaasoose, Uganda Cranes yalumye n’ogwengulu nebateeba goolo 2 nebasobola okukunguzza Bafana Bafana okubatusizza ddala ku ddakiika essembayo mu biseera ebyayongeddwamu.

Omutendesi wa Uganda, Put Paul Joseph, yafudde essanyu nga Uganda Cranes ezannya obutebalira naddala mu kitundu ekyokubiri.

Omupiira gwakomekkerezeddwa nga 2-2, obutafuna muwanguzi naye nga ttiimu zombi ziwonye enkwaso, Uganda n’efunayo akabonero ak’amaanyi ku ttaka lya Bafana Bafana.

Uganda Cranes goals against South Africa

Abazannyi abateebye goolo:

  • Uganda Cranes: Denis Omedi (52’) ne Rogers Mato (55′)

Emipiira egiddako:

Uganda Cranes ejja kusamba ne Congo Brazzaville  mu mupiira oguddako ogwa kwolifaya e Namboole Stadium nga 09th September 2024. Ate South Africa, yo ejja genda South Sudan Bafana Bafana, gyejja okusambira  omupiira gwaabwe ne South Sudan nga 10h September 2024.

Abawagizi ba Cranes n’ab’omupiira mu Uganda bakyalina essuubi nti ttiimu yaabwe ejja kukola bulungi mu mipiira egiddako era bwe beeyongera okuwagira nga bwe gwandibadde.

Exit mobile version