Ugafode Microfinance Bank Bawuliriza 0800223900

Aba Ugafode Microfinance Bank nga basinziira ku kitebe kyaabwe e Wandegeya mu Kampala ku kizimbe kya Silver Arcade nga oleeze obwanga mu YMCA, bateegeeza abantu ababuli ngeri nti bawereeza ba kasitoma mungeri nnyingi.

Biki byewandyagadde okummanya nga oggulawo akawunta nabo?

Bank eno, esaba ebintu bitono ddala okusobola okubegattako nga ozze kukitebe kyaabwe ekikulu oba nga ogeenze ku mattabi gaabwe agenjawulo mu Ggwanga lyonna, oba nga otuukiridde ba agenti baabwe.

Bino byolina okubawa nga akawunta eggulwaawo.

Advertising

Akafanaanyi kamu (1) aka passpoota.

Koppi y’endaga muntu

Emitwaalo ebiri (20,000) eziggulawo akawunta.

Bwooba obeggasseeko, oba osobola okusaba okufuna looni okusobola okutambuza emirimu gyo nga teweralikiriide kunsasula kuba looni zaabwe ziriko amagoba amasaamusaamu ate era n’engeri ey’okusasulamu nyangu ddala.

Business loan (Looni eyobyobusubuuzi)

Bwooba oyagala okufuna Looni oli waddembe okutuukiriira manager ku ttabi lyaabwe lyonna, oba okutuukiriira ekitebe kyaabwe ekikulu e Wandegeya.

Bagaba looni nnyingiko nga muno mulimu.

Agriculture (eyo ebyobulimi)

School fees (okusomesa abaana)

Business loan (eyo byobusubuuzi)

Financial inclusion for refugees (Okkola ku by’entereka ya sente eri abo ababundabunda) nendala eziwerako.

Agriculture loan (Looni eyobyobulimi)

Mungeri eyenjawulo okusobola okutuusa obuwereeza bwaabwe eri buli muntu, Ugafode Microfinance Bank LTD (MDI), balina bakituunzi nga bano omulimu gwaabwe gwa kulaba nti ba kasitoma baabwe tebajula.

Related Articles