Site icon Uganda Today

Ssentebe Kamaadi Obuyisiraamu Abutadde Ku Minzaani Enzito

Abaganda nga bwe bagamba nti oli kasobeza nga atema omuti kwatudde, ate era nebagamba nti kawereege nga eddya lyobukadde, engero zino zombi zaatukiridde bulungi ku Ssentebe wa disitilukiti ye Kalungu mu Buddu.

Abayisiraamu mu district y’e Kalungu batadde kunninga Ssentebe wa district eno Munna-Nup Nnyombi Mukiibi Kamaadi olw’okulabikira mu bifaananyi nga asitudde embizzi kyebagamba nti kiwebuula ekitiibwa ky’obusiraamu.

Ba Sheikh mu Kalungu bagamba nti ssentebe Nnyombi Mukiibi Kamaadi okubeera ssentebe wa District y’eKalungu Banna-Kalungu bakitwala nti Abasiraamu bebali mu buyinza e Kalungu kyokka okulabikira mu bifaananyi ng’asitudde embizzi bekanze nebagamba nti waakiri y’andsindise omumyuuka we n’amukiikirira mu kifo ye okukwata embizzi zino n’azigabira abatuuze.

Gyebuvuddeko government ng’eyita mu nkola eyagunjibwawo okusitula abantu mu by’enfuna eya Operation Wealth Creation yaweereza banna Kalungu embizzi ezisoba mu 1000 era Ssentebe Kamaadi yasitukiddemu okuzigabira abatuuze.
Banna Kalungu abatali basiraamu kino baakisanyukidde nga bagamba nti Ssentebe tasosola mu ddiini.

Ebintu eby’okulya ebimanyiddwa okuganibwa abayiraamu okulya  mulimu omwenge n’embizzi.

 

Abayiraamu banna Kalungu bagamba nti Ssentebe ono kasobeza ddala nga bwalina ammannya abiri ag’enjawulo okuva mu bika bibiri era bewuunya kika ki ekituufu mwaava!

Exit mobile version