Site icon Uganda Today

Ssekabaka Namugala: Yalekulira Namulondo

WUUNO SSEKABAKA WA BUGANDA EYALEKULIRA – NAMULONDO N’AGIWA MUTOOWE.

Ssekabaka Namugala Kagali yali mutabani w’omulangira Golooba Musanje n’omuzaana Nabunnya Naluggwa ow’endiga. Namugala yalya Obuganda mu 1741 oluvanyuma lwa mugandawe Mwanga asooka okubulira mukibira.

Amangu ddala nga y’akatuula ku Namulondo, yafunirawo obutakkaanya ne mutoowe omulangira Kyabaggu Kabinuli. Olwaali olwo munange Kabaka ng’alwaala ekiimbe, Bwatyo mukusamba ensiko, yafuna omuganga eyamulaggula nga Mutoowe Kyabaggu bweyali amuloga.

Kabaka yagaana okukkiriza nti omwana wa nnyina ne kitaawe asobola okumutuusa ku kino. Bwatyo bweyadda mu lubiri lwe e Kitala, yatumya mutoowe ajje amulambule kuba obulwadde bwaali bumubala embiriizi.

Enyumba Muzibu Azaalampanga, omuterekebwa ba Ssekabaka ba Buganda abazaaye, eri kumutendera gwa nsi yonna ogwebijjukizo n’ebyafaayo bw’obungwa (International Heritage). Enyumba eno esangibwa e Kasubi mu Kampala, erimu ba Ssekabaka okuva ku Muteesa 1

Mutoowe bweyatuuka, Kabaka yamusaba amuyambe amulumike. Okumulumika bwekwaggwa, Kabaka kyeyava amubuuza;

‘Owange omwana wa nnyabo, lwaki onzita? Empulubujju zimpitako wano nga bwoosiiba ku baganga mbu onoonya kunzita. Nze ssaagala kukulwaana lwa Namulondo, yensonga lwaki nkuyise njikukwaase mu butongole’

Kabaka yakwaata ebbali n’abaako byajjyayo nayogera nti;

‘Ebyaffe biibyo, Obuganda mbukuwadde. Waangaala ayi Ssebo Kabaka waffe Kyabaggu. Obadde mulangira kati gwe Kabaka, newankubadde ba Kabaka abalala bonna bazzenga basikira obwakabaka nga Kabaka abaddeko azaaye, ggwe ogenda kufuga nga Kabaka abaddeko akyaatemya. Ogwo nno gweemuweendo gwolina okusasula’.

Bwatyo Kabaka Namugala n’alekulira mu 1750, Namulondo n’agiwa mutoowe Kyabaggu. Kigambibwa nti olwaata obuganda, Namugala yageenda amakanda n’agaasimba ku kyaalo Bulamazzi mu Bujjuuko e Mpigi mu Mawokota.

Ab’ebyafaayo bagamba nti Ssekabaka Namugala yamera ebbango nga yakalya Buganda nga kyekyamulowozesa nti mutoowe yali amuloga. Embeera eno yamweraliikirizanga nyo nga y’ensonga lwaki yatandika okwekatankiranga omulangira ssegamwenge paka kejjenge.

Ku nkomerero Ssekabaka Namuggala yazaawa bweyagwa ekigo ng’atambula ku kasozi k’e Nalubugo. Awo nno yajjibwamu akaba n’ekatwaalibwa e Muyomba mu Busiro ate enjole yyo n’etwalibwa e Merera.

Exit mobile version