Site icon Uganda Today

Ssegirinya Yali Yatabagana Dda Ne Waiswa Mufumbiro

Ssegirinya wakati, yali yatabagana dda ne Mufumbiro ku kkono ne Rubongoya ku ddyo.

Uganda Today Edition: Ssegirinya Yali Yatabagana Dda Ne Waiswa Mufumbiro

Abadde omubaka wa  Kawempe ey’omumambuka Muhammad Ssegirinya eyava mu bulamu bw’ensi eno ku lwokuna lwa sabbiti eno gyetukomekereza, yasadde bangi mu Ggwanga era yawambye emikutu gyamawulire gyonna nga bamwogerako olw’embala eyenjawulo gyalosezza mu byobufuzi bwe Ggwanga.

Ssegirinya Yali Mubaka Wa Njawulo

Ssegirinya bweyalondebwa okukiikirira ekitundu kye Kawempe  mu Lukiiko lwe Ggwanga olukulu yali wa mukisa mubi nti teyamala bbanga liwera nakawaatibwa gavumenti wamu ne munne owe Makindye Allan Ssewanyana, nebasibira mu Kkomera e Kitalya nga bayungiddwaako omusango gw’okwetaba mu kitta bantu ekyakolebwa ku bantu be  Masaka abatemwatemwaanga ne Ebijambiya amangu ddala nga akalulu ke 2021 kakaggwa.

Newankubadde nga abalamuzi abenjawulo abawereraddala basatu babeera mu mitambo gyokuwulira omusango guno, era omu kubo yali abawadde akakkalu ka Kkooti neebeyimirira naye ate abakuuma ddembe nebabawamba nebabazza mu Kkomera gyebamaala emyaka egisoba mu ebiri.

Kitalo Nnyo Ekyokufa Kw’omubaka Abadde Akiikirira Kawempe Ey’omumbambuka, Muhammad Ssegirinya. Naye okufaakwe kwawambye amawulire gonna mu Ggwanga, kino nekiretera abantu abenjawulo ku mitimbagano okujjayo bingi ebikwaata ku bulamu bwa Muhammad Ssegirinya omuli n’obutambi obwenjawulo , nga muno mwemuli naako akalaga okutabagana kwa Ssegirinya ne Waiswa Mufumbiro.

Ssegirinya Yali Yatabagana Dda Ne Waiswa Mufumbiro

Bwebaava mu Kkomera obulamu bwa Ssegirinya bwaali mu mmatigga era yatwaalibwa mu Malwaliro agenjawulo wano ne Kenya najjanjabwa. Nga akomyeewo kubutaka,  Waiswa Mufumbiro, yamwogerako ebigambo ebitaali bituufu nti “teyali mulwadde wabula yali akola katemba”. Ebigambo byekika kino byaayogerwa ne ku mubaka Nambooze Bakireke. Ssegirinya ebigambo bino byamunyiiza nnyo era naawera Mufumbiro obuttajjanga ku maziikage. Naye okulafuubana kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu omukulembeze wa NUP yabatabaganya, Mufumbiro yamenyawo ebigambo bye era neyetondera Ssegirinya nebatabagana.

Wuliriza Akatammbi Kano 

Abalamuzi Abenjawulo Baawulira Omusango Gwa Ssegirinya Ne Ssewanyana

Abalamuzi bano kwaaliko omulamuzi Komuhangi Khauka, Omulamuzi Alviza, n’Omulamuzi Lawrence Tweyanze nga ono yeyamma Ssegirinya okweyimiriwa okusobola okugenda e Germany gyeyali yakava asobole okujjanjabwa.

Reach Out to Us Today!

📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk

📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews (Uganda
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com

Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country!

Exit mobile version