Uganda Today
Omumbejja Ssangalyambogo Awangudde Emisomogye Ku Nottingham University
Okutikkirwa kuno kwaliwo nga 24/07/2023 ku David Ross Sports Village.
Bino Nabagereka yabisibiridde omumbejja kukijjulo ekyekyeggulo ekyategekeddwa ku Corinthia, Courtroom Whitehall in London, Bungereza okujjaguza okutikkirwa kwo mumbejja Ssangalyambogo. Omukolo gwetabiddwaako ab’enganda, ab’emikwaano ababaddewo ennyo mubulamu be’omumbejja okuva mu buto.
Ekirabo ekyenjawulo okuva eri Kitaawe Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II kyatuusiddwa mukuluwe Naalinya Victoria Nkiinzi.
Omukolo guno gwetabiddwaako omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, omumbejja Victoria Nkiinzi, Jade Nakato ne Jasmine Babirye.
Abalala mwabaddemu, Catherine Doreen Bwete, Nakuya Juliet, Venerable Dr. Prince Daniel Kajumba, omubaka wa Ssaabasajja e Bulaaya mu UK ne Ireland Oweekitiibwa Ssalongo Geoffrey Kibuuka n’omumyuukawe Rev. Enock Kiyaga Mayanja, Omukungu G W Kalanzi, Omutaka Nkalubo Richard (Musu), n’omukungu Edgar Kavuma. Abalala mwabaddemu Dana Ingabire akulira okutegeka emikolo gya Nnaabagereka Gemma Morgan-Joned University ya Nottingham yakiriddwa PROF. Dr Sarah Turner and Prof Dr Natalie Moore okuva mu Nottingham University Business School.
PROF Frederique Bouilheres
Nottingham University nayo yategesseeyo omukolo ogwenjawulo okuyozayoza omumbejja ne Nnaabagereka ku Brailsford Suite .
Nnaabagereka, nga yategezezza bweyenyumiriza ennyo mukuwangula emisomo n’obuwanguzi Ssangalyambogo byeyatuuseeko era neyebaza Katonda okubatuusa ku kkula lino. Nnaabagereka era yebazizizza abayambye ennyo omumbejja okusobola okumalako emisomo naddala Nyina omuto mukyala Cate Bwete, Mwami Solomon ne mukyala Grace Kabuye e Nairobi, ba Nyina Sarah Kiyingi, Barbara Mulwana-Kulubya, Maria Kiwanuka nabala bangi abaamulabirira nga omwana owaabwe. Ssengawe Nalinya Elizabeth Nakabiri, Sylvia Kibaya, Ven. Dan Kajumba n’omukungu Edgar Kavuma, Omukungu Rev. Enock Kiyaga nabalala.
Yebazizza Ssangalyambogo olwokuba owegonjebwa, omuwulize eri abantu bonna.
Ssangalyambogo yatandika emisomogye ku Kampala Junior Academy, Kabira International School mu Uganda, kati eriyitibwa Kampala International School, weyava nagenda ku Peponi School e Nairobi okusoma haya oluvanyuma nayingira, Nottingham University okumala emyaaka ena.
Ssangalyambogo bweyageenda e Bulaaya yalinga eyetongodde naye ate kyaleetera obazadde obwetalikirivu.
Ssangalyambogo yazaalibwa mu 2001 mu Bungereza nga ono mumbejja ow’e Ngoma owa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ne Nnabagereka wa Buganda Sylvia Nagginda.
Katrina- Sarah muwuzi wansuso era nga awangudde emidaali mingi.
Omumbejja ayagala nnyo omupiira era muwagizi wa Manchester United. Mu 2017 bweyali nga alambula ekitebe kya Manchester United, Ssangalyambogo yawandiikibwa nga omubaka omutongole mu Manchester United.
Ssangalyambogo era amanyiddwa nnyo nga omuntu wa bantu era nga alina abantu ababuli kika abawerera ddala 155,000 ku mikutu mugatta bantu.