Ssaabasajja Kabaka Ronald Kimera Muwenda Mutebi asiimye okulabikako eri Obuganda era ayogereko eri abantube olwaleero nga 08.10.2022 nga Buganda ejjukira amefuga gaayo.
Kinajjukirwa nti nga 08.10.1962, Duke wa Kent yagenda e Mengo naawa Buganda obwetwaaze bwaayo oluvanyuma lw’olukiiko olwaliwo mu Lancaster mu London mu 1961, Ssekabaka Muteesa mweyasabirwa akirize Buganda okugattibwaako ebitundu ebirala ebya Uganda olwo Uganda nayo esobole okuweebwa obwetwaaze.
Ssekabaka Muteesa yakiriza Buganda okugigattako ebitundu ebirala wabula nga yo esigala n’enfuga eya Federo nga erina puliisi eyaayo era nga esolooza omusolo ogwaayo nga basobola okukola emirimu gyaayo mu by’enjigiriza, eby’obulamu n’enkulakulana okutwalira awamu.
Ebitundu bya Uganda bino mwaliimu, Buganda, (yali yankizo nnyo) kubanga okukiriza kwa Buganda okugigattako ebitundu ebirala nga muno mwemwaali Busoga, Tooro, Bunyoro, Bukedi, Lango, Acholi, Bugishu, Kigezi, Ankore, Madi, Teso, Karamoja ne Rwenzururu kyasobozesa Uganda eyawamu okutondebwaawo nokusobola okkuwa Uganda obwetwaaze bwaayo nga 09.10.1962.