Site icon Uganda Today

Ssaabasajja Awerezza Abantube Obubaka Bw’amazaalibwa Mu Buganda Ne Uganda

Katikkiro nga abuzaagannya ne Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ku gimu ku mikolo nga basisinkannye.

Uganda Leero: Katikkiro Aggumiza Obubaka Bwa Ssaabasajja Obw’amazaalibwa Eri Obuganda Ne Uganda

Nga ansinziira emitala wa Mayanja Ssekukkulu gye yamusanze, Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, yawerezza ababtube obubaka obubayozayooza okutuuka ku mzaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristo ag’omwaka guno.

Obubaka buno, Katikkiro bweyajjeemu emiramwa e kumi n’ebiri, nga asinziira mu Eklezia Luttiko e Lubaga, olwaleero yannyonyodde omulamwa ogw’okwegatta Ssaabasajja gweyasimbyeeko essira okusobola okukuza Obuganda.

Katikkiro yayongedde okukkatiriza obubaka bwa Ssaabasajja ku mulamwa ogwokwewala obusosoze nga buno bwatandika nokweyolekera ne mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu, ne luvaamu nokusikagana ebitogi. Ssaabasajja yakubirizza abantube okwewala ebikolwa nga ebyo ebisensedde ne mu gavumenti ez’ebitundu awalala.

Ssaabasajja yasabye abantube bonna okweyongera okulima emwaanyi, okuba abavumu era n’okukuuma ennono n’olulimi Oluganda.

Ye omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aggumiza obubakabwe obutamuva ku mumwa okusaba gavumenti okuta abantu bonna beyasibira obwemage. Ate ye Ssaabasumba Ssemogerere asabye abantu okuwangana ekitiibwa.

Reach Out to Us Today!

📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com

Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country!

Exit mobile version