Minisita Namuganza agobeddwa

Palamenti egobye minisita Persis Namuganza ku buvunanayizibwa buno nga kino kizze oluvanyuma lwokukuba akalulu era ababaka abasinga obungi nebakiwagira .Olwaleero palamenti eyitiddwa mu lutuula olwenjawulo olwanjuliddwa alipoota eyakoleddwa akakiiko akaateekebwaawo Omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa ku nsonga ezikwata ku nneyisa ya minisita Persis Namuganza nobutawa kitiibwa palamenti era nga ensonga eno yaleetebwa omubaka Okoth John Amos . Ssentebe wa kakiiko Mwine Mpaka Rwamirama ayanjudde alipoota eno nga etutte essaawa ezisoba mu bbiri nga alaga obujulizi bwebakungaanya awamu n’abantu bebasisinkana byebaabawa nga bakola okunoonyereza.

Mwine Mpaka Rwamirama ssentebe w’akakiiko

Ono ategeezezza nga munnamateeka wa minista Pande Norman bweyategeeza nga bweyali asindikiddwa minisita Namuganza okumukiikirira , wabula yalemererwa okuleeta obujuluzi obukakasa kino okutuusa akakiiko lwekawandiika alipoota. Pande era yategeeza nga omuntu we bwataweebwa kadde kamala okwennyonyolako awamu n’okukungaamya obujuluzi .Ono era yategeeza nga bwebalina n’emisango egiwerako mu mbuga za mateeka era nga gyakuwulirwa mu myezi egijja mu maaso.Wabula akakiiko kaawakanya ensonga za Pande olw’ensonga nti minisita yaweebwa obudde obumala okuwaayo okwewozaako kwe era nti n’omutendera omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa gweyatuukako okuwandiikira pulezidenti kiraga nti minisita Namuganza yategeezebwa era nti ateekeddwa okwewozaako .

Wabula akakiiko era mu alipoota yaako kalaze nga munnamateeka pande bwataalaga mpisa nga alabiseeko gyebali naye kino baakigumira era nebamuwa omukisa okukiikirira omuntu we. Ssentebe w’akakiiko Mwine Mpaka Rwamirama mu alipoota era alaze obujulizi obwaleetebwa ababaka okuli omuwaabi awamu naabamuwagira nga bano baaleeta obutambi okuva ku mikutu gyebyempuliziganya egyenjawulo awamu ne mpapula zamawulire omuli NBS, NTV, BBS ne Daily Monitor.

Ssentebe era akiikaatirizza nga minisita Persis Namuganza bweyagaana okulabikako mu kakiiko emirundi gyonna gyebaamuyita. Oluvanyuma lwokusoma alipoota ababaka batandise okukubaganya ebirowoozo wabula abawaddeyo endowoza zaabwe ku alipoota tebasobye bataano nga bonna bawagira olwo omubaka Barnabas Tinkasimire nategeeza palamenti nga bwebamusabye okuleeta ekiteeso okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno kuggwe olwo okukonda kutandike era nga awagiddwa ababaka bonna.

Wabula Asuman Basalirwa ategeezezza palamenti nga bwebandiyimirizza obumu ku buwayiro obubafuga naddala obukwata ku kuggala ekifo ewateesezebwa nobulala era kino kkikiriziddwa .

Ekizeeko kubadde kukuba kalulu nga obwedda kalaani wa palamenti asoma amannya ga babaka okuva ku litandika okutuuka ku lisembayo nga bwegaliranaganye era okulonda kugenze okuggwa ng’ababaka 356 ababaddewo 3 bagaanye okulonda , 5 bagaanye okuwagira ekiteeso ate 348 bawagidde ekiteeso kino. Abamu ku babaka abasoga balaze nga Minisita Persis Namuganza bwebaamuyita begeyeemu ku nsonga zino naye nabajuliza nga ensonga ze bweziri mu mbuga z’amateeka kati nabo kwekumulekerera ono abadde omubaka Muzaale Martin Kisule Mugabi. Abamu ku babaka abattawagidde kiteeso bategeezezza nga kino bwebakikoze olwokuba nti buli muntu akola ensobi nga n’olwekyo ne minisita Namuganza yandididdwamu . Ababaka abatawagidde kiteeso kubaddeko Alion Yorke Odria (Aringa South Yumbe), Richard Walyomu (kagoma County), Annet Mary Nakato (Buyende disitulikiti), Roy Katali (Jinja disitulikiti) Abatalonze kubaddeko Florence Akiiki Asiimwe ( Masindi disitulikiti), Busingye Peninah kabingani (Abakadde) , Lee Denis Aguzu (Maracha County). Abamu ku baminisita abagobebwa palamenti okuva mu 1998 kuliko Maj. Gen. Jim Muhwezi, Sam Kuteesa 1999 nga Namuganza agobeddwa kati wakusatu. Wabula waliwo n’abalala abalekulira nga enteekateeka yokubajjamu obwesige etandise kuliko Kiddu Makubuya 1997, Saida N. M. Bumba 2012, Prof. Kirunda Kivejinja 2011 Kabakumba Matsiko 2011 ne Mathew Rukikaire 1997.