Site icon Uganda Today

Owekitiibwa Nabbosa Ssebugwaawo Tazzangaawo Bwa Kabaka

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebbi II, Kabaka wa Buganda owa 36

Uganda Leero: Ebbaluwa  Eri Katikkiro Charles Peter Mayiga

Bya: Katwere Musajjaakaawa (+256 704 801313)

Omulamwa:  Tewali Asobola Kujjawo Kabaka  Oba Obwakabaka.

Nsaba gwe akyaalimu ensa era nga ddala olina obuvumu bw’obuzira bwa bajjajjaffe, otuuse obubaka buno eri abataka b’ebika n’abalangira b’emituba gya Bassekabaka, abaami ba kabaka, awamu n’abantu bonna gyebawangaalira.

Nga tukkomekkereza omwaka 2024, nze awamu n’abazzukulu abatalina bwogerero butuuka gy’oli, gwe Katikkiro wa Buganda tukusaba okutegeeza abantu bonna, naddala bannabyabufuzi nti “Abaganda bebalwanirira eddembe lyabwe n’obuyinza bw’eggwanga lyabwe; era n’okutuusa leero bakyalwanirira ettutumu ly’ensikirano y’obuyinza bw’ebifundikwa bya Nnamulondo, obutaka bw’ebika, Emituba gya Bassekabaka, Embiri, Ebiggwa n’embuga z’omu oyo omwoyo Ttonda Ddunda Katonda.”

Kabaka bwe butonzi obusibukamu obutonde bw’eggwanga ly’Abaganda n’obwakabaka. Wabula kyenyamiza era kyanaku nnyo nga bannakigwanyizi abeerimbeka mu by’obufuzi, balinyirira eddembe ly’Abaganda okweyagalira mu buyinza bw’eggwanga lyabwe.

Awo nno kikyamu omuntu yenna okugamba nti “yeyazzaawo Kabaka oba Obwakabaka.” Omuntu yenna okwegulumiza nti ye yazzaawo eddembe ly’abaganda, ako kaba kamanyiiro, ejjoogo n’obunyoomi ebisibuka mu butamanya oba mu bantu abagenderera okuvvoola, okutyoboola oba okuweebuula Buganda!!!

Kabaka asibuka ku butonzi, era  Obwakabaka busibuka mu butonde; ate tebissibwawo Ssemateeka, amateeka, endowooza y’abantu, oba ebibiina byobufuzi, wabula bwe buzaale n’obuzaaliranwa bw’obutonde bw’eggwanga ly’Abaganda. Atenga Ssemateeka n’amateeka bitekeddwa okulambikibwa, okulunngamizibwa n’okulambululirwa ku buwangwa n’ennono y’eggwanga ly’Abaganda n’amawanga amalala agali mu mugotteko gwa Uganda.

Bazzukulu ba Nambi n’abaana ba Kintu mwenna mbagaliza okutuuka mu mwaka 2025, era gubabeerere gwa mirembe. Bulijjo munywererenga ku mazima, kubanga galibalwanira okuyimirizaawo eddembe lyamwe n’obuyinza bwa kabaka..

Nze Katwere Musajjaakaawa (+256 704 801313) Katwe katono kamuwunda empanga ya Muwanga

Reach Out to Us Today!

📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews (Uganda
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com

Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country!

 

Exit mobile version