Uganda Today Edition: Omwana awonye Okufiira Mu Mugga
Ekkakalabizo lya Ssabaminista gyebuvuddeko katono lyafulumya obubaka ku Radios ne TV nga bakubiriza abantu bonna, naddala abazadde n’abamasomero okutwaala obuvunaanyizibwa obusingaawo okusobozesa abaana naddala ab pulayimale okusobola okugenda ku masomero n’okudda awaka.
Abazadde n’abamasomero balina okweyongera okulabirira abaana okugenda n’okudda awaka mu biseera bino nga enkuba eya Museneene efuddemba. Tunuliira akatambi kano olabe omwna eyannunuddwa
Enkuba efuddemba ennaku zino eya Museneene etuusizza emigga mu bitundu by’eGgwanga ebitali bimu okwanjaala amazzi negatuuka ne mu makubo agamu. Obubaka buno abantu baabutwaala era akatambi kano wammanga, kakulaga omwaana eyali atwaliddwa amazzi naye yasobola okwekwaata kubitoogo abantu kwebamusaanga nebamunyulula mu mazzi.