Site icon Uganda Today

Omuyizzi Ate Kati Gwebayigga: Male Mabirizi

Male Mabirizi nga akkute ebitabo ku Kkooti omulundi ogumu.

Abangereza balina enjogera egamba nti omuyizzi ate kati gwebayigga (a hunter is hunted). Olugero luno lutuukira bulungi ku munnamateeka Male Mabirizi omulamuzi Musa Ssekaana gweyakaliga ekibonerezo kyokusibwa emyeezi 18 n’okuliwa obukadde 300.

Olwaleero nga 25/02/2022, Male mabirizi aleeteddwa mu Kkooti nga asaba ekibonerezo ekyamukaligibwaako okusibwa emyeezi 18, kisazibweemu. Wabula kino omulamuzi ali mumitambo gy’omusango guno akigaanyi.

Ekyokuliwa obukadde 300 Male Mabirizi yakiwakanya mu Kooti ejjulirwaamu era omulamuzi Christopher  Mandrama akisazizaamu wabula nagaana okumuyimbula mu Kkomera olwokuba tajuliranga ku nsonga eno.

Male Mabirizi awolerezebwa munnamateeka omulala bwebenkanya embazuulu Ssemakadde nga naye mukiseera kino yayiddwa poliisi ekkola okunonyereza abeeko byalambika ku kuvvoola abalamuzi.

Omulamuzi amulagidde asseemu okujulirwa kwe kuwulire ku nsonga y’okusazaamu ekibonerezo kyokusibwa emyeezi 18 kyaliko kati.

Exit mobile version