Abitex oba muyite Abbey Musinguzi Nakinku mukutegeka ebivvulu mu Uganda era nga ye mukulembeze wa bategessi b’ebivvulu mu Ggwanga, akwaatiddwa olwaleero oluvanyuma lwokutegeka ekivvulu ekyokumalako omwaka ku Freedom City ku Lwe Entebe omwafiridde abantu kati abaweze ekkumi olwaleero. 9 baafudde jjo ate ow’ekkumi afuude leero.
Okusinziira ku mwogezi wa Puliisi, Mwami Fred Enanga, abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Puliisi e Nagulu, Abitex akwaatiddwa olwaleero era nabalala nga eyali kalabalaba w’omukolo banonyezebwa basobole okuyamba ku puliisi mu kunonyereza kweriko okuzuula ekyaviriddeko abantu bano bonna omwaabadde n’abaana abato okufa ekirindi.
Kyategezeddwa jjo nti bwezaali zigenda okuwera esaawa 6 ogwekiro eziyingira mu mwaka omuppya, ku lwa 31.12.2022, kalabalaba ono yajja kumuzindaalo, nayita abatu bafulume basobole okulaba ebiriroliro ebyaali bigenda okubibwa. Newankubande nti emiryango mingi egiri mukifo, kino, naye omulyango gumu gwokka gwegwaggulwaawo mukaseera kano.
Kino kyaletera abantu okwenyiga era bangi naddala abaana abato baagwa abantu ababalirirwa eyo mu 500 abajja mu kivvulu nebalinyagana nga beyuna okufuluma okulaba ebiriroliro. Enanga agamba nti nga ojjeeko okukwaata n’okunoonya abalala abetaba mukutegeka ekivvulu kino, bajja kukwaata n’okuvunaana abazadde ba baana abataweza myaaka 18 abaleetebwa era nebafiira mukivvulu. bano bonna bajja kuggulwaako omusango gwokulagajjalira obulamu bw’abantu.