
UgandaLeero: Omutaka Katwere Musajjaakaawa +256 704 801 313 Asoomozezza Katikkiro
Nsaba mwenna abasomye obubaka buno mufube nnyo nnyini ddala okubutuusa eri Bajjajjamwe Abataka b’Ebika n’Abalangira b’Emituba gya Bassekabaka, Abaami ba Kabaka awamu n’Abaganda bonna gyebawangaalira.
Ffenna twebuuze, ddala mu mbeera eno eyokuwabya Obuwangwa N’ennono Y’Eggwanga Ly’Abaganda, kisoboka okujaguza Amakula g’amakulu g’Olubogo okusobola okutumbula omugaso gw’olubugo mu nkulaakulana y’Eggwanga ly’Abaganda n’Ensi yabwe Buganda?
Ennaku zino, Katikkiro n’Abaami ba Kabaka batubidde mu NGE y’emitima gyaabwe. Simanyi oba wa, ddala gyebajja obukyaayi n’obujja byebalina obutasobola kulaba bintu biyiinza okulakulanya Bwakabaka bwa Buganda, Ebika n’Olulyo lw’Abalangira nebabisaako essira?
Ensonga y’Olubugo n’Okukomaga yandibadde nnyo ku mwanjo mu nteekateeka y’ebikolebwa mu Bwakabaka, kubanga kekabonero akasasanidde Ensi yonna okusobola okwolesa obugunjufu bw’Eggwanga ly’Abaganda…
Nsaba twefumiintirize, ENGE kye ki?
Abantu bangi bafuna ensalwa, obujja n’obutayagaliza Kabaka oba bannabwe. Olw’ensalwa n’obujja n”obutayagaliza Kabaka oba banabwe, Abantu bafuna omutima ogw’effubitizi; era Emmeeme yabwe n’emerako ENGE (oba Akasajja ng’enjogera y’ennaku zino bweeri)
Olwefutwa n’effubitiza,ebiva ku bukyaayi, obujja n’obutayagaliza, abantu batandika okukola Enkwe, okulemesa oba okutta abo abalinawo oba abafuna ebirungi bo byebatalina.
Abantu abalina “Enkwe z’Enge, bayitibwa Enkwezenge; era kyekyavaako ejjogera nti “Abataka Nkwenge!!”
Ekitongole ky’Obwakabaka eky’Ebyobulambuzi Kyandibadde kiyingiza obutitimbe bwa sente, ezisobola okuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka n’abantu bonna mu Buganda, awatali kutikka Bantu migugu gy’Oluwalo okutwala sente e Mmengo, ate ne banafuuya enkola y’okutwala Amakula ewa Kabaka mu Lubiri.
Kinakuwaza nnyo Abaganda abakyalimu Ensa, ng’Abantu batwala Oluwalo ewa Katikkiro, ate ng’abaana baabwe babalemeredde okubatwala mu masomero n’okubajjanjaba!
Obwakabaka bwandibadde basaale okutunda olubugo mu Mawanga ag’ebweru era abantu bangi bandibadde bafuna Emirimu okugabana ku butitimbe bwa sente ezaandivudde mu byobulambuzi n’ettunzi ly’olubugo..
Waliwo obujulizi obwenkukunala okulumiriza Katikkiro n’Abaami ba Kabaka okutunda n’okudobonkanya ebifo by’ebyobulambuzi ebifumbekeddemu ekkula ly’ebyobugagga ebikulukuta mu Mbiri, Obutaka, Ebiggwa n’Embuga z’Emwoyo. Wabula byonna bitundiddwa BUGANDA LAND BOARD nga Katikkiro yemusaale!!!
Ekyewunyisa, Bajjajjaffe abalitasizza Eggwanga ly’Abaganda, byonna babiraba naye baatitirira Nnamulondo!!
Katwere Musajjaakaawa
+256 704 801313


