Site icon Uganda Today

Omululu Mubi Nnyo: Jimmy Spire Ssentongo Mukitontome Kye Akulaga Omululu N’abantu

Dr. Spire Ssentongo who government officials want to silence because of championing the crusade to unearth the rot in service delivery and the infestation of endemic corruption

Uganda Leero: Abaatukubira Omululu Baatutta

Kirimululu okufanaaganako ne Kabbira gwe baayimbako oluyimba nti Kabbira baamutema ekyambe nga akwenyuka obubbi n’okusoma byonna nga abyagala!. Obubbi n’omululu mize mibi nnyo, omuganda okuva edda ne dda lyonna byeyakugiranga omwanawe okuba nabyo.  Mu Buganda omwana akuzibwa nga alagirwa okumattira n’ekyo ekitono kyalina natalulunkanira bingi ebiyinza okumutwaala mu kukemebwa okwobubbi..

Bya: Jimmy Spire Ssentongo
Mwami Spire Ssentongo, omukugu mu kwogeza ebifanaanyi, nga akozesa ekifanaanyi okwogera. Olwaleero ayise mu Kitontome kino okwatulira abo bonna abeesomye okuluvubanira buli kimu.
Twakuzibwa batukubira omululu
Mbu okulya enyingi si kuggwa maddu
Emmere nga tulina kulya ya kigero
Ate nga tetulina kuswankula
Okuvaabiira nga musango
Twakuzibwa tuyigirizibwa ensonyi
Okuba n’okuswaala mu bitasaanira
Ow’omulugube nga ayeyerezebwa
Nti ‘kiri mululu nze nfa empewo’
Okulookalooka nga kivve
Olujjuliro lwayonoona aba wano
Mbu okusomesebwa okufaayo ku balala
Okulya nga obalirira boolya nabo
Nga tolina kufuuka mulungi omu
Obutagaaya nga kiswaaza
Ba nyaffe baatubegeranga ffena tulaba
Obwenkanya n’obwerufu mu ngabula
Nga n’ebwetutakkuta tetutoma
Otomaki nga mugiridde mwenna!
Obutebaza kufumba buba butasiima
Bano banaffe bo baakuzibwa batya?
Oba ffe twakuzibwa mu kwonoonebwa?
Laba bwebamalako enva ku zaabwe
Ate ne bajja bakoza mu zaffe
Okuswaala kivve
Laba bwebaswankula nga tebatemya
Amaaso gabatwakadde butagaaya
Laba bwebavuubiika n’omugoyo
N’obugudde ebbali babukombawo
Okuwemuka tewali
Lwaaki baatuyigiriza obutemalaamu?
Laba empisa zigeenda kutussa enjala
Banaffe beesenedde empuuta yonna
Balya n’ebegoga n’ebabejjagala
Okwesittala kwaffe
N’obutono bwetulina bubaleega emisuwa
N’ebakwaata mu zaffe okujjamu ebifi
Nga bakambwe okukira empisi envubuka
Omululu ogwabwe bagwambala bukanzu
Okulookalooka mpisa
Twatandika ddi okuyiwa endusu mu nva!
Maama komawo olabe gyewandeka
Babatise empuuta bameketa mwaanyi
Banyweerako amata ne bbongo
Okwewombeeka kunzita
Maama, lwaki wankubira omululu?
Taata, wali ontegekera nsi ki?
Banaffe bafukula buli lwaliiro
Nze nkuuma buntubulamu
Obuntubulamu bunzita

Exit mobile version