Site icon Uganda Today

Omulimu Ogwakolebwa Sir Edward Muteesa Ekyavaako Okwefuga Kwa Uganda

Ekijjukizo kya Ssekabaka Muteesa. Kabaka Muteesa yeyakiriza okugatta Buganda ku biytundu ebirala ebya Uganda okusobola okutondawo Uganda. Mu bitundu bino 14, mwe mwaali: Buganda, Busoga, Bunyoro, Tooro, Ankore, Acholi, Kigezi, Lango, Bugisu, Bukedi, Karamoja, Madi, Sebei ne Teso

Uganda Leero: Omulimu Ogwakolebwa Sir Edward Muteesa Ekyavaako Okwefuga Kwa Uganda

Sir Edward Frederick William David Walugembe Mutebi Luwangula Mutesa II KBE (19 Museneene 1924 – 21 Museneene 1969) ye Ssekabaka wa Buganda eyaddira Kitaawe Sir Daudi Chwa mu bigere nga akisiza omukono  mu 1939.

Yeyali Kabaka wa  Buganda owa 35 era yeyali president wa Uganda   eyasooka okuva 1962 okutuuka 1966, lweyawangangusibwa Milton Obote eyalumba era nakuba n’okwookya Olubiri lwe e Mengo

Omulimu Ogwakolebwa Sir Edward Muteesa

Ssaabasajja yali Kabaka ateryaanga ntama mukulwanirira obwatwaaze bwa Buganda n’oluvanyuma okkukiriza obwetwaaze bwa Uganda okutukirira. Yalafuubana nnyo okusigaza obwetwaaze bwa Buganda newankubadde nga oluvanyuma lwokukizuula nti Uganda yali tesobola kutondebwaawo nga Buganda si yegitoonzewo, kino yakikiriza olwokuba Buganda yeyaali mu massekkati ga Uganda.

Ssekabaka Muteesa yalya Engoma ya Buganda  1939 era yatuuzibwa ku Nnamulondo ya bajjajjabe nga 18 Museneene 1942 ku lunnaku lwenyinni olwa mazaalibwaage.,Yadda ku Ngoma ya Buganda nga asikira Kitaawe Ssekabaka  Daudi Cwa II  eyalamula Obuganda ku mulembe gwa bafuzi ba amatwaale.

Buganda yafuna obwetwaaze bwaayo nga 08.10.1962 ate Uganda nefuna obwaayo nga 09.10.1962

Mu 1953, yasalawo Buganda yekuttule ku bitundu ebirala  ebya Ssemazinga wa Africa eby’ebuvanjuba omwaali Kenya, Tanzania ne Uganda nga bwekyaali kitegekebwa Abangereza abaali bafuga ettundutundu eryo. Nga asinziira kukikolwa kya Ssekabaka Muteesa, gavana Andrew Cohen yawangagusa Ssekabaka Muteesa ekyaviirako Abaganda okweggugunga nga basaba Kabaka waabwe okuzzibwa era endagaano yakolebwa mu1955 Kabaka yakommawo mu Buganda .

Mu Myaka egyakulembera obwetwaaze bwa Uganda, Abaganda badda emabega wa Kabaka waabwe nebatandikawo ekibiina kya  Kabaka Yekka nebatta omukago ne Milton Obote eyali owa Uganda People’s Congress. Ssekabaka Muteesa yafuuka omukulembeze wa Uganda (Pulezidenti) ate ye Obote nafuuka  Ssabaminista eyaweebwa obuyinza obwokufuga Uganda eyawamu. Wabula mu 1964, gavumenti yawakati yateekawo akalulu akekikungo, akaasalawo ku Masaza abiri, Buyaga ne Bugangayizi okuzzibwa e Bunyoro nga gagibwa ku Buganda. Kino kyanyiiza Ssekabaka Muteesa naasalawo okuyita Olukiiko lwa Buganda nelusalawo okugoba gavumenti ya Obote okuva ku Ttaka lya Buganda.  Kino nno kyaleetawo obukubaagano wakati wa Obote ne Ssekabaka Muteesa era mu1966, Obote yalagira Amin eyali omudduumizi wa Maggye okulumba Olubiri lwa Kabaka nga agamba nti yali ayagala kuwamba buyinza bwe.

Obulamu Bwa Ssekabaka Muteesa Obwasooka

Ssekabaka Muteesa yazaalirwa mu Maka ga Albert Ruskin Cook e Makindye, Kampala, nga 19 Museneene 1924, yeyali omwana ow’okutaano mu baana ba Ssekabaka Daudi Cwa II, eyalamula Obuganda okuva mu 1897 okutuusa 1939. Nyina wa Ssekabaka Muteesa yeyali Nnaabagereka Irene Drusilla Namaganda, ow’Ekika kye Nte. yasomera mu  King’s College Budo.

Olukiiko Lwe Lancaster London Ku Kwefuga Kwa Uganda

Olukiiko lwaggulwawo nga 18 Mutunda 1961 era neluggwa nga 09 ogwa Mukulukusabitungotungo (10). Olukiiko luno lwalimu abakiise okuva mu mu bitundu bya Uganda ebyaali byetaaga  okwegayilira Buganda nga bayita mu Ssekabaka Muteesa okkukiriza Buganda okwegatta ku Uganda eyawamu era nokkukiriza gavumenti ya Uganda ekolebwe ku Ttaka lya Buganda Mu Kampala. Buganda mu Lukiiko luno kyakanyizibwaako nti, ejja kusigaza okwefuga kwaayo nga Kabaka alina Pulisi eyiye era nga asolooza omusolo ogugwe mu nkola eya Federo. Buganda yaweebwa obwetwaaze bwayo nga 08.10.1962 ate enkeera nga 09.10.1962 Uganda n’eweebwa obwetwaaze bwaayo.

Ebitundu bya Uganda ebyakkaanya okutondawo Uganda nga byegatta ku Buganda. Buganda, Busoga, Bunyoro, Tooro, Ankore, Acholi, Kigezi, Lango, Bugisu, Bukedi, Karamoja, Madi, Sebei ne Teso

 

 

Exit mobile version