Site icon Uganda Today

Omukulembeze W‘Ekibiina Ky’olulimi Oluganda Atusaadde Nnyo

Uganda Leero: Twasaaliddwa  Nnyo  Okufiirwa  Lukabwe  Kisirikko, Zzoboota  Wa  Muwanga  Ssebyoto  Kisolo

Tujja mu nsi nga tukaaba wakati mu masanyu n’okujaganya, nga buli omu akulisa Abazadde okufuna OMWANA.

Abaana bangi, bakuzibwa abalala ne basigalira mu NJEGO z’okulwanirira okuyimirizaawo obulamu.

Mu bulamu bw’ekivubuka bangi boolesa empisa oba emize; bafuna emikwaano; bazimba obumu; era bangi babukozesa okuyiga, n’okufuna obukugu okukola bintu ebigasa abantu oba ebisaanyawo Obuwangwa n’Ennono y’ebika oba Eggwanga lyabwe.

Ffenna nga tukungubaga olw’OKUVIBWAAKO ZZOOBOOTA LUKABWE KIRISIKKO, twebaze, tugulumize era tutendereza obulamu bwe bwonna bwakozesezza okukolerera Eggwanga lye; alwaniridde okuyimirizaawo OLULIMI lwe okutaasa Obuwangwa n’Ennono y’Ebika, Eggwanga n’Obwakabaka bwe.

Okusaasira n’okusonyiwa bidde eri Omu Oyo Omwoyo Ttonda Ddunda Katonda ffenna tuganyulwe mu byonna ebirungi byayolesezza mu bulamu bwe.

Amazima Zzooboota LUKABWE Kisirikko, akoleredde Eggwanga lye awatali kwerekereza yadde kwesaasira; era tuli bamativu nti Obulamu bwe butuukirizza essuubi n’okwebazibwa kw’Abazadde, olunaku lweyatuuka mu nsi.

Yadde tuzaalibwa nga tukaaba, wakati mu ssanyu ly’abazadde n’abemikwano; abagalwa bangi bwe baffa batuleka nga tukaaba wakati mu biwoobe n’emiranga.

ZZOOBOOTA LUKABWE KISIRIKKO WUMMULA MIREMMBE

Katwere Musajjaakaawa.

Exit mobile version