Site icon Uganda Today

Omuganda Okuva Edda Nedda Yali Amanyi Era Nga Asinza Katonda

Bya Katwere Musajjaakaawa

*OGOBERERANGA OBUTUUKIRIVU BWO NG’OJJUMBIRA EBIRAGIRO BY’OMU OYO ASINGIRIDDE (OMWOYO) ASINGA BYONNA: NGA YE DDUNDA, TTONDA, ALLAH, KATONDA*

Abaganda bayigirizanga nti omu oyo (Omwoyo) asinga byonna yakyaawa, era yakoowa abantu abamusabiriza nga tebafaayo kukola namikono gyaabwe lwa nsonga zino wammanga:

Abavubuka abayimbi Denis Mugagga ne munne Dan Ssewagudde nga bombi Baganda, nga bambadde amakaanzu era nga besumise (n’embugo), olugoye lwa Baganda olwayiiyizibwa omuganda (Wamala) owekika kye Ngonge najjako Abaganda ensonyi ezokuyita obwereere.
Olugoye olw’olubugo lukomagibwa okuva mu Muti ogw’omutuba. Era olwokuba lwayiiyizibwa ow’eNgonge, omulimu gw’abekika kye Ngonge mu Lubiri lwa Ssaabasajja kyeguva guba ogw’okukomaga embugo za Ssaabasajja.

1- Yakuwa omubiri oguliko byonna byewetaaga okukola emirimu egikuyimirizaawo;

2- Yakuwa embeera ekwetoolodde, ng’enjudde byonna byewetaaga okulwanirira n’okuwanirira obulamu bwe yakuwa; awamu ne bajjajjabo, bazaddebo, ezzadderyo n’ebanywanyi bo;

3- Yakuwa obwongo okwekennenya ebisaanidde n’ebitasaanidde kukola oba okwogera;

4- Yakuwa amatu, amaaso n’olulimi okuwuliziganya n’ebitonde byonna, okufuna byatakuwa ku mubiri gwo, ate ng’oddizza abo abalina byotolina, era abatalina byolina;

5- Yakuwa empuliriziganya gyaali ku myaaliro n’emitendera; yakuwa obulamu, ng’oteekeddwa okumwebazanga amakungula gotuuseko, era okumugulumiza olw’ekkula ly’obulamu bwo n’abantu bo, ng’okumutendereza olw’ekisa kye, okukuuma, okukuwerekera n’okukulembera ng’akutaasa abalina ettima, obukyayi, empalana, enge, n’obutakwagaliza, ebijjudde mu balabe abangi ddala, naye ng’abamu abo gw’obayita banywanyi bo oba mikwano gyo.

‘Ganda Boys’ nga bakulembeddemu abayimbi abazungu okuyimba oluyimba lwa Buganda (Ekitiibwa kya Buganda)

Toyaayaaniranga kukulembera, wabula owulirizanga era n’odduukiriranga n’obudaabuda abalina obwetaavu. Gwe manya nti olw’ebikolwabyo, abantu balikuyitimusa olw’ebirungi n’ebyetaago byogabana n’abo.

Ogumiikirizanga, era obanga mwetowaze, omwesimbu, owamazima, omwenkanya, omukakamu, omuntumulamu, ayagaliza ebitonde byonna. Era tososolanga bakwagala n’abakukyaawa, kubanga Omu Oyo (Omwoyo) Asinga byonna yakuteeka ku nsi okukuuma obulungi bwa byonna byewasangako, era mweyassa n’okukulira obulamu obukuwangaaliza mu ssanyu, emirembe, obutebenkevu n’enkulaakulana y’ensikirano za bajjajjabo ng’ozikuumira n’oziterekera abaana n’Abazzukulu bo.

Abayimbi bano Baasalawo okutumbula eby’obuwangwa bya Baganda era kyebaava beyita erinnya lya ‘Ganda Boys’

Awo nno buli nkya buli ggulo, mu buli ttuntu ne buli ttumbi, tokoowanga okukuma ekyooto okuwuliziganya n’abeŋŋandabo, n’abemikwano gyo mu bw’Omwoyo, era tokoowanga okufukamira mu maaso g’enteeko y’Abalongo okuwuliziganya n’amaloboozi g’ebuziba okukulambika, okukuluŋŋamya n’okukuwabula kw’ebyo byonna by’oluubirira okutuukako, nnaddala okwekennenya, okusengejja, okwefumiitiriza n’okukenunula byonna amatu go by’egawulira, amaaso go byegalaba n’emmeeme yo byerubirira okuganyulwamu.

Ojjukiranga okussa ekigali mu nteeko y’Abalongo, kubanga y’ensawo egabirira bajjajja b’obuzaale bwo, ezzadde n’Abazzukulu bo.

Ebigali gwe mugabo gwa Kabaka mwojja amakulage n’okuwa oluwalo lwo, okuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka; okukulaakukanya obutaka bw’ekika kyo, n’okuvujjirira abaami ba Kabaka, Abasiige mu mbiri za Bassekabaka, n’embuga zonna mu nsozi, mu bibira, mu biwonvu ne nnyanja, awamu ne Bakabona mu Biggwa.

Dan Ssewagudde, ku Kono, ne Denis Mugagga amuddiridde nga bali ne Maama Nabagereka wa Buganda, n’omuzungu.

Ojjukiranga okuterekera abaana n’Abazzukulu bo ng’ossaawo ennimiro z’emmere n’ebibala; n’ebiraalo by’ente, embuzi, endiga n’ebinyonyi, kubanga ebyobugagga ebyo ky’ekigabuliro ky’Emisambwa n’Amayembe abakwoolesa ebyama by’obuufu obukutuusa ku buli kirungi Omu Oyo (Omwoyo) Asinga byonna bye yakukuliramu amaanyi g’obutonzi, obuyinza bw’obutonde n’obuvunaanyizibwa bwa buli awali ebyetaago byo n’abantu bo.

Toyaayaaniranga era tewayagalizanga byotokoleredde,

OMUKISA KUKOLA;
OKUKOLA BWEZA;
OBWEZA MUKISA;
…. OBWA MUKASA
…. OBWA NDAWULA BW’ABAANA;
…. OBWA KINTU NE
KISOLO NTABAALO, AKWATA EFFUMU N’ENGABO GWE BAWA.
KY’OVA OWERA ERI NNAMULONDO NTI “…KABAKA WALIGWA NAAWE WOLIGWA..”

BULIJJO OJJUKIRANGA OKWEJJUKANYA EBIGAMBO BINO, KUBANGA BWE BUTUUKIRIVU BWO.

Katwere Musajjaakaawa

+256-704-801313

 

Exit mobile version