Site icon Uganda Today

Olukiiko Lwa Buganda Nga Lutudde Mu 1900

Olukiiko Lwa Buganda 1900

Obwakabaka bwa Buganda bwaava dda nga buteekateeka eby’obufuzi ebyewuunyisa abazungu. Abazungu bakizuula nti mu Africa yonna tewaali ggwanga gyebasaanga nteekateeka yabyabufuzi nungamu nga gyebasaanga mu Buganda.

Kino kyaviirako ne Uganda eyaawamu nga emaze okutondebwaawo  okugiyita Ekkula lya Africa (The Pearl of Africa). Ekifanaanyi ekiragiddwa kuntandikwa y’emboozi eno, kiraga Olukiiko lwa Buganda nga luttudde mu 1900. Kiraga omuserikale owa puliisi y’ebiseera ebyo, nga ayimiridde butengerera nga akuuma ababaka nga bateesa mu Lukiiko.

Kale nno ennaku zino lwotolaba ba Sserwajja okwoota nga bawangamye ku Buganda nolowooza nti bebasooka okuteekateeka ebyenfuga ye Ggwanga lyetulimu kati erya Uganda.

Exit mobile version