Site icon Uganda Today

Olugero Luno Lwaava Ku Ki?

Olulimi Oluganda nga kati luli ne kumukutu gwa Google kweruvununirwa mu Nnimi endala nga Olungereza, lulina engero n’ebisoko nfaafa. Ebimu ku bisoko n’engero birina kwebyaava.

‘Wulira Bino’ akuletedde

Aboogera Oluganda nga bakozesa engero n’ebisoko, enjogera eno mubadde mugimanyi ensibuko yaayo? ‘Nkole mpoomye, Nalunga yagoya Mayuuni’, ‘Ontuuse Nalunga weyatuuka Jjuuko’

Nalunga ayogerwaako yali muwala wa Ssemaluulu ow’Envuma eyabeeranga ku mutala Nabutiiti nga kati kisangibwa Makindye mu Kampala wano. Ng’eno Ssekabaka Jjuuko Mulwaana gyeyamusanga n’amuganza.

Ng’abawala abeddira envuma bw’obamanyi, ne Nalunga yali muwala mulungi. Nalunga wadde yali mulungi nyo, wabula bwe yalaba ku Kabaka Jjuuko naye yamatira bya nsusso era bwe yamuwayira, Nalunga yakolanga buli kisoboka okusobola okuwangula Nakisozi ow’Embogo Jjuuko gweyapepeyanga naye obudde obwo.

Kabaka buli lweyagendanga ew’Omuzaana Nalunga, nga Nalunga yeetala ng’omukazi omuwadi anoonya akadomola okusobola okumatiza Kabaka.

Olwaali olwo, nga Kabaka atuuka ewa Nalunga nga n’omutema mpola gumusaayirira. Kino Nalunga olwakimanya, ng’afuluma kukuma kyoto atere afumbire oyo gweyasiima.

Nalunga yafumba mu bwangu ddala era Kabaka aba aly’awo ng’entalamule esoosotola. Kabaka katono agweewo ekigo Nalunga bwe yaleeta amayuuni amagoye. (Ebiseera ebyo, amayuuni bagagoyeezaanga bawere).

Kale abaami abaali ku kijjulo kw’olwo ne baseka nyo nga bwebagamba nti ‘Nkole mpoomye, laba Nalunga bw’agoyezza amayuuni’ awo nno wewasubuka enjogera eyo.

Kyokka Kabaka Jjuuko yakimanya nti mukwano gwegwaali gugoyesezza Nalunga amayuuni.

Kabaka mu kusiima Nalunga kyeyali akoze, yamugamba nti ‘Ontuuse ku mutima abalala we batatuukanga’. Awo nno wewasibuka enjogera egamba nti ‘Ontuuse, Nalunga weyatuuka Jjuuko’

Kigambibwa nti okuva olwo, Kabaka Jjuuko teyaddamu kupepeya na Mukazi yenna okujjako Nalunga era akaseera akaddirira Nalunga yafuna ettu era n’azaala Omulangira Lumweeno.

 

 

 

Exit mobile version