Site icon Uganda Today

Oluganda N’ebisoko Byalwo

Ebisoko N’engero

Ebisoko bye bigambo oba enjogera eyenjawulo eyagungizibwawo bajjajja ffe nga erina amakulu amakusike okuva ku ago agabulijjo abantu gebamanyi. Okukozesa ebisoko kiraga obukugu n’okunyumisa Oluganda. Kale faayo nnyo okubikozesanga obutabyerabira.

Enjawulo Wakati wokkozesa ebigambo gusinze ne Gutusinze Ssaabasajja

Gusinze kikozesebwa okuwera n’okulaga Ssaabasajja nti okulamula kwe oba obufuzi bwe bibunye buli wamu mu Buganda nawalala. Ate Gutusinze nnyo Ssaabasajja kiraga kunnyolwa nga kwolesebwa eri Ssaabasajja okuviibwaako omusajja oba omuzaanawe. Gutusinze kitera okwongerwaako nti “Gutusinze twakuumye bubi omusajja oba omuzaanawo awummudde oba afudde”.

Culton Scovia Nakamya munna Mawulire ku BBS TEREFAYINA nga annekedde mu Gomesi, ekyambalo ky’omukyala Omuganda.
Ekyambalo kino kijjayo ennyo ekitiibwa n’empisa y’enyambala y’Omuganda.

Ebisoko ebya lukale ebimu bye bino n’amakulu g’abyo. Naawe yongera okunoonyereza kubanga byo bingi era tebiggwaayo.

1. Okulya mundago——– kuyimba
2. Okukooka——————- kuyimba
3. Okuyimbya endubaale————kubonyabonya nnyo muntu
4. Okukooza omuntu akajiri———– kubonyabonya nnyo muntu
5. Okulabya omuntu ennaku———– kubonyabonya nnyo muntu
6. Okukekkeza ennyago—————-kulwana
7. Okukweka enjala——————— kulwana nga okozesa bikonde
8. Ebifuba okubabuguma————— kulwana
9. Enkalu okudda okunywa————kulwana
10. Okukoona ebbidde——————-kunywa nnyo mwenge
11. Okwebikka amazzi——————-kunywa nnyo mwenge
12. Okubeera Waddanga————— kuba mutamiivu
13. Okubeera lujuuju——————— kuba mutamiivu
14. Okubeera lugalika bita—————kunywa nnyo mwenge
15. Okuwunzika empaawo/endeku—–kunywa nnyo mwenge
16. Okukongojja omumbejja Nnamaalwa——–kunywa nnyo mwenge
17. Okukongojja omulangira Ssegamwenge—–kunywa nnyo mwenge
18. Okwesiwa amagengere————kunywa nnyo mwenge
19. Okwesererera obugonja———-kunywa mwenge
20. Amataaba—————–ssente eziweebwa abaafiiriddwa nga okuziika kuwedde
21. Omuliro gwa Buganda okuzikira—————————-kufa kwa Kabaka
22. Okukisa omukono————– kufa kwa Kabaka
23. Okuggya omukono mu ngabo———- kufa kwa Kabaka
24. Kabaka okuseerera—————- kufa kwa Kabaka
25. Kabaka okubula————– kufa kwa Kabaka
26. Okubikka akabugo ku maaso———- kufa kwa Kabaka
27. Okubikka akabugo————-kuziika kwa Kabaka
28. Okutereka enjole————– kuziika kwa Kabaka
29. Ekyemisana okukirunga mu mmindi—–kusiiba njala
30. Olubuto okuba ku mugongo———- obeera muyala nnyo
31. Enjala okukuulamu olulimi———– obeera muyala nnyo
32. Okwerya enkuta—————butaba na kyakulya okumala ebbanga eddene
33. Ab’omu lubuto okubanja—— bubeera kuba muyala nnyo
34. Okukoowa nga banyaga———-kulemererwa nga oli kumpi kuwangula
35. Okukuba ekintu obuddinda——kumannya nnyo kintu
36. Okuba kakensa mu kintu———- kumannya nnyo kintu
37. Okuba nnakinku —————— kumannya nnyo kintu
38. Okubeera mmo mu kintu———- kumannya nnyo kintu
39. Okweriisa enkuuli——————kusinga bantu balala okumanya ekintu
40. Okunywa mu banno akendo——–kusinga balala
41. Okulya omuluka ——————– kusinga balala
42. Okubeera kaliba mu kintu———- kumannya nnyo kintu
43. Amatama okufunya ebikonde——-kulya
44. Okusereekerera ekitaggumira—————kulya
45. Amazina g’ekirevu——————– kulya
46. Okuwunya ku gwa ddyo———— kulya
47. Okuwa amatooke obwala——————kulya.
48. Okukwata ak’e Wamala————– kulya
49. Okugenda okuwooma—————– kulya
50. Okugenda ku mutala Naalya———- kulya
51. Ddungu okuba nga ayizze———–kufuna kirungi ky’obadde tosuubira
52. Kye wayagaliza embazzi kibuyaka okuba nga asudde—–kufuna kyoyagala nga tosoose kutegana nga bwobadde osuubira.
53. Okwekuulira akabazzi ku kugulu—————–kwereetera bizibu
54. Okwetyabira akalimu obuwuka——– kwereetera bizibu
55. Okwezaalira emineene——————- kwereetera bizibu
56. Okwereetera emiteeru——————- kwereetera bizibu
57. Okubeera ku yoleke———————kubeera na bizibu
58. Okuba mu ddubi——————————kuba mu buzibu.
59. Okuzaala emineene————-kuleeta bizibu.
60. Okuwoza ogwa kkapa okuzaala embwa nga endiga erinnya enju——–buzibu kweyongera.
61. Okusoberwa eka ne mu kibira———kusoberwa kya kukola olw’ebizibu
62. Okubeera mu kattu————- kubeera na bizibu
63. Omusekera nnyuma—————ngalabi
64. Eggaabe—————————–ngalabi
65. Liiso ddene———————–Katonda
66. Lugaba—————————- Katonda
67. Ddunda————————— Katonda
68. Nnamugereka——————– Katonda
69. Ebigambo obutabaako mutwe n’amagulu———-kuba nga si bituufu
70. Ebigambo okubeera ebya njwanjwa—————- kuba nga si bituufu
71. Ebigambo okuba ebya sswakaba ——————– kuba nga si bituufu
72. Okutimba ebbula————————kulimba muntu
73. Okutema amagembe ————————kulimba nnyo muntu
74. Okukuba enkondwe————————kulimba nnyo muntu
75. Okubeera nga amatama ntengo———-kusobya nga bakubuuza tolina kya kuddamu
76. Ekintu okufa ttogge————–kufiira bwereere nga tewali ayamba
77. Ekintu okufaafaagana ng’entungo eyiiika——— kufiira bwereere nga tewali ayamba.
78. Okuteerawo omuntu akabega———————-kweyimirira (kuwolereza) muntu.
79. Okuzza erinnya—————————————–muntu kufiira ku mawanga.
80. Okuddira mu bbaasa————-kuzza muntu afiiridde ku mawanga
81. Okuta akaka———————————————–kuyomba.
82. Okubuuka enswa————————————— kuyomba oba okuta akaka
83. Okwesala akajegere———————————- kuyomba
84. Okulinnya mu kyoto————————————kugaanira ddala.
85. Okukomba ku ppaasi—————————–kugaanira ddala.
86. Okwerema———————————————-kugaanira ddala.
87. Ebintu okuba ng’obutta————————————-nga bingi nnyo.
88. Ebintu okuba ng’obugulu bw’eggongolo—————-bintu kuba bingi
89. Ebintu okuwugako ebiwuge——————kuba n’ebintu nga bingi nnyo nga tobimalaawo
90. Ebintu okubeera eby’ekkekwa———————kuba nga tebirabika
91. Okuba olumbe lw’ekirago——————————-kuyisa bubi banno nebakwetamwa.
92. Ennyindo okuba nga ey’enkata————————–kunyiiga.
93. Okuba Sseggaali—————————————kuba mugagga nnyo.
94. Okubeera bifekeera——————– kuba mugagga nnyo.
95. Okuba binnyonkondo———————————kuba mugagga nnyo.
96. Okukuba omuntu enkata———-kumuwa kyabadde tasuubira
97. Omuntu okuba ng’ensimbi azanjazaamu kati———-kuba mugagga nnyo.
98. Omuntu okuba bifeekeera————————-kuba mugagga nnyo.
99. Ekintu okuba ekinnya n’empindi—————-kintu kuba kumpi nnyo.(kusemberegana)
100. Okuba kawenkene ——————————–omukambwe atenga mukozi wa bivve.
101. Embazuulu y’omuntu———————–omukambwe ennyo.
102. Okuba ebyoya by’enswa———————————–butagasa.
103. Okuba n’akamwa akalimu akazigo———————-muntu kuba nga ayogera bulungi.
104. Omuntu okuba nakamwa ak’essunsa————muntu kwogera ng’aboggola ate ng’avuma
105. Ekintu oba omuntu nampawengwa————–kuba nga talina ludda w’agwa.
106. Omuntu okulya mu lulime ne mu luzise———————butaba na luda w’aggwa era ow’enkwe.
107. Omuntu okwefuulira mu kiti nga embazzi————muntu kwekyusa n’ava ku kye mwateesezza
108. Omuntu obutaba na mugongo—————-muntu butanywerera ku kintu
109. Omuntu okutwalibwa embuyaga ——————– muntu butanywerera ku kintu
110. Omuntu okutuuka ku kyalo embwa neziboggola———muntu kutuuka ku kyalo oba ku kitundu w’amanyiddwa ennyo.
111. Embaki y’omwana —————buba bulalu nnyo.
112. Okubuuza erigenda e mugga———-kubuuza kyolabako.
113. Okugwa ku muntu——————kumuvuma oba kumugeya
114. Okukuba obulatti—————-kuba nga tolina kyokola
115. Okulera ezitakaayirirwa (engalo)—————–kuba nga tolina kyokola
116. Okuba akabwa n’engo————–kuba nga temukolagana temwagalana.
117. Okuba nga temulima kambugu————–kukyawagana na muntu.
118. Okusiba olumbe kumpagi———-kugenda kukola kintu naye nga tokyalimu maanyi.
119. Okukuba evvu—————————-kuduula.
120. Obudde okudda ku bunaabwo————–bizibu kweyongera eri muntu.
121. Okuluggulira gye lutaggulirwa( ku ppata)——kwereetera bizibu
122. Obulamu bw’omuntu okuba mulusuuubo—–muntu kuba ng’essaawa yona ayinza okufa.
123. Omutugunda okubala emwanyi————–kintu kuba kinyuvu.
124. Okubinuka amasejjere—————-kusanyuka oba kujaguza oluvanyuuma lw’okutuuka kubuwanguzi
125. Okubula omukombi————————kintu kuba kiyitirivu ate nga kinyuvu.
126. Okubuza embuga——————————————kusesema.
127. Okuddako omubiri—————————kugejjagejjamu obo kunyiriramu.
128. Okuddamu kajambojambo————–kuddamu maanyi
129. Enswa okugoba ennyonyi————-kintu butasoboka
130. Embwa okuzira amata————— kintu butasoboka
131. Okugguka obuseke——————-kutuuka (awatali kwekommoma)
132. Okugoba obumale——————— kutuuka (mu budde)
133. Emberenge okugaga————–mbeera kwonooneka
134. Obudde okudda ku bunnaabwo——- mbeera kwonooneka
135. Ekintu okugula omuddu n’omwana——–kuba kya buseere (bbeeyi)
136. Ebintu okugula omukazi omuzungu——- kuba kya buseere (bbeeyi)
137. Ebintu okugula obuwanana (ng’obwagula Mukono)—- kuba kya buseere (bbeeyi)
138. Okumansa entungo—————-kwogera nga owemula
139. Okumokkola agagambo aganene———- kwogera nga owemula.
140. Okwatika n’omuntu ———————-kuyomba na muntu.
141. Okulebera n’omuntu————-kuneneŋŋana na muntu naddala mu Mbuga ya Kooti
142. Okwereega n’omuntu———– kuneneŋŋana na muntu
143. Okuleebuukana n’omuntu———- kuneneŋŋana na muntu
144. Okwanika omuntu—————kuvumira muntu mu lujjudde (kuswaza muntu)
145. Okuyiwa ku muntu ettonotono———-kuziika muntu (mufu)
146. Okuwerekera omuntu———————kuziika
147. Okuyisa omuntu mu kamwa————-kusooza muntu
148. Okuyisa omuntu mu mannyo—————kusooza
149. Okuyisaamu omuntu amaaso—————kunyooma muntu
150. Okuyisaamu omuntu agengege————kugaya muntu
151. Okuwoza ogwa kkapa okuzaala embwa ng’ate endiga erinnya enju———-bizibu oba bintu kwongera kuzibuwala
152. Okuwoza mpola embuzi ndikuwa ente——————-kwetema kyotoosobole.
153. Amatooke okubotoka——————–kuba nga gengera.
154. Okukutwala ekirinnya mutikka——————–kukutwawala mangu nga teweyagalidde.
155. Enva okutwala emmere——————–nva kuwooma nnyo.
156. Omukazi omuyima okutuulira ku kisaabo——————–kuba nga  okkottogeddwa.
157. Olugendo o’kuteresa embwa——————–nga lugendo lunene.
158. Okwessa mu ddemeezi——————–kutandika kutambula oba kugenda.\
159. Okwessa mu ddene—————————————-kutandika kutambula.
160. Mwasanjala—————————————-luguudo lwa olunnene.
161. Omuntu obutalutumirwa mwana——————–muntu kwenyigira mukintu.
162. Okutomera emmere——————–kusanga nga balya.
163. Amakula——————–by’ebintu byebatonera kabaka.
164. Okutimba bbula——————–kulimba.
165. Okutereera obubya (obuwombo bwewunzika) ———-kutuula nokkalira mukifo.
166. Omwenge okusiiwa——————–kuba muka nnyo.
167. Okukuyeeya——————–kunyeenyamu mwenge guli mudeku ngogenda kunnywa.
168. Obukaba okusiiwa omuntu——————–kuba mukaba nnyo.
169. Olumbe okusogola omuntu——————–muntu kulwala nnyo.
170. Omuntu emagombe okusimbayo ekitooke—————— kuwonera watono kufa
171. Omuntu okuba ku ndiri——————–kuba mulwadde nnyo.
172. Omuntu okuba ng’olumbe lumubala embirizi————-kuba nga mulwadde nnyo.
173. Katonda okuba nga akyabisseeko obusubi—————okuba ng’omulwadde omuyi akyaliwo tannafa.
174. Okusula amaliba——————–kusula njala.
175. Okukowoola omusibe abombye——————–kumala budde (biseera)
176. Okulonda obwoya mu kkukuuzi———-kumala budde ngokola ekintu ekitasoboka
177. Okumala ebiseera ng’alaawa embwa——————–kutawaanira bwerere.
178. Okumala ebiseera ng’akunamira muzibe———— kutawaanira bwerere.
179. Okutongojjera obusa ng’asaba oluwanga obulamu———– kutawaanira bwerere.
180. Okumala ebyo mu bulago————— kutawaanira bwerere.
181. Okukootakoota mu ga lumonde————– kutawaanira bwerere.
182. Eokuzina  now’ettulu—————–kwanguyirwa kintu
183. Okusindika asitamye—————–kwanguyirwa kukola kintu.
184. Okugobera ekinya mu ssubi——–kukugamba kukola naawe kyoyagala
185. Okuyisa omukka mu kisero—————–kwanguyirwa kukola kintu.
186. Okutuma enfuuzi okwennyamira—————–kwanguyirwa kukola kintu.
187. Okuyisa omukka mukisero—————–kwanguyirwa kukola kintu.
188. Okuseereza erigenda enmugga—————–kwanguyirwa kukola kintu
189. Okusindika omunya mussubi —————-kulagira muntu kukola kyayagala
190. Okusiindika asitamye—————– kulagira muntu kukola kyayagala .
191. Okuyiringisa entengotengo————–kwanguyirwa kukola kintu.
192. 0kulya myungu butesokoola————kintu kuba kyangu nnyo.
193. Ekintu okugula obusanga————–kuba nga kiseerebwa nnyo.
194. Okukusuula ku migandu——-kukusuula ku mitawaana oba buzibu
195. Okuliisa ggoonya———————kulima
196. Okusamba ennanda————–kulima.
197. Okukwata akasimo———- kulima.
198. Okutemula ensiriƞƞanyi———- kulima.
199. Obutasekera ku kaalo katono—————-kuba ng’osekera waggulu.
200. Okusenya ku kintu—————-kintu kuba nga kingi nnyo tokimalayo.
201. Okuba n’omusota munsawo——————————–kuba mukodo.
202. Ensimo/akasimo—————-nkumbi.
203. Kyapa ggoonya—————- nkumbi
204. Ekkakkalabizo/ yaafeesi—————-w’ofiisi.
205. Okumaza emmere—————-kutta muntu.
206. Okulumisa ekivu——————————–kuttisa mundu.
207. Okutema ebisiki—————-kusumagira.
208. Omukwero———————-kisasi kya nju/ kifugi/ lubalaza
209. Obuteerya ntama————— muntu kuba nga tatya mu kwogera.
210. Okulya mu ttama————-kuboggola.
211. Okulya kameenya————-kulya nnyo.
212. Okulonda omuntu mu bangi————-kufuna gw’oyagala.
213. Okulinnya mubintu eggere————kulemesa kintu kyonna kugenda mumaaso.
214. Okulinnyira omuntu mubigere————-kuwerekera ku muntu.
215. Okulinnya enkandaggo————-bintu kweyongera mumaaso oba waggulu.
216. Okukomba mu kibatu—————kukuba nduulu
217. Okussaako kakokola tondeka nnyuma———-kudduka kabi
218. Okwetegula ekibabu———– kudduka kabi
219. Okukuba ez’okumaji————muntu butaba na maanyi gakola kintu.
220. Okukuba akanuulo————–kutambuza bigere
221. Okuyita ku lugwanyu———kuwonera watono kufuna kizibu ekinene
222. Okusimba kasooli————— kutambuza bigere
223. Bitooke byebigwa—————kukola nnyo kintu.
224. Ekintu okugwa omuntu kkono—————kuba nga kyamulema
225. Okwesiba ku muntu—————kwagala nnyo muntu ate nga ye takwagala.
226. Okuzza muddiiro—————kuzza oli ku mulimu gw’abade tasuubira olwokuba ng’ogwonoonye.
227. Okuggwa ennyalwe—————kumatira kintu.
228. Okutunula emberebere ngo’mukulu ateetimbye—————kutunula mungeri ya kiswavu.
229. Okuwangaala obusekuzo (ekinu kyatika) —————kuwangaala nnyo.
230. Okuggundagunda——————————kuwangaala nnyo.
231. Okukula endaala——————————kuwangaala nnyo.
232. Okusiisira awantu———-kulwawo nnyo
233. Akasana okwaka ffuwuuke——————–kwaka nnyo.
234. Akasana okuzukusa Kawekwa eGgangu——————–kwaka nnyo.
235. Akakindo okusala enkoko———————olugoye olugoloddwa obulungi naddala empale y’omusajja.
236. Okulunda omuntu———————–butamuwa ddembe oba kakisa kwetaaya.
237. Okwesiba ebbiri————————————kwenyweza.
238. Okugomba mumuntu obwala———–kumukwaata.
239. Okussaako omuntu obunnnyogoga——————–kumussaako mpingu.
240. Okuweebuuka——————kuswala.
241. Ekintu okugeenda bukwakku—————-kukwata kintu ‘nobunyiikivu nokikola nekiggwa mangu
242. Emmeeme okutyemuka——————kwekanga.
243. Okubeera mu katyabaga———– kubeera mu mitawaana.
244. Okubeera ku kanaayokya ani————————– kubeera mu mitawaana
245. Okubanga gakyaali mabaga—————kintu kuba nga tekinagenda wala oba maaso.
246. Okugwa ku Ngo eriko omwana————kugwa kubuzibu obwamaanyi.
247. Okuzinya omuntu engera——————-kubonyabonya ennyo muntu.
248. Okuba omuddusi kayingo———————kuba muddusi nnyo.
249. Okwenkana ensiri——–kuba mutono nnyo.
250. Okubalira ebintu kungalo——————–kuba nga bitono nnyo.
251. Okwogeza akamwa————–kwogera bwogezi ku ekintu ate nga tookikole.
252. Okuda mukulya nga katonga ajjula—————–kulwawo kukola kintu mu kiseera ekyetagisa era oba oli awo omulala nakitwaala oba nakikola.
253. Okutunula kimpewukirize ng’embwa esitamye ku malaalo————–kubeera mu bweralikirivu.
254. Omusana okwokera omuntu e katebo————-kutawaanira bwerere.
255. Okusibirira entanda——————-kubuulirira oba kuwa magezi.
256. Okuva ku kintu obukumbu (nkuyege kuggi) ————–kukiviirako ddala nga tolina kyokituusizaako.
257. Okusiibula ekintu (musota bwoya)————–kukiviirako ddala.
258. Okwekengera omuntu————————kumutya oba butamwesiga.
259. Okwekomba ebinkumu———————— butaba na kyakulya.
260. Okuba omusaale——————kuba nga gw’asoose okwenyigira mu kintu.
261. Ekintu okudda omuntu—————————-kumusemba oba kumutama.
262. Okutagalatagala ng’obussajja bw’e Bulemeezi———kuwowoggana n’ebintu ebitagasa.
263. Okukonjera omuntu—————kumuwaayiriza.
264. Okuliwa omuntu—————–kumusasula nga wamusobya mu ngeri y’okutanga.
265. Okutuuza nniya——————-kusooka kuguma n’okulinda nga oli kubuggubi.
266. Okukakuba nekalaala——————-kusoka kulinda oba kusirika.
267. Okumma ebintu ammazzi—————–butabifaako nolinda.
268. Okubuuka—————–okufa kw’omulongo.
269. Okugalambya—————-okuziikibwa kwomulongo.
270. Omulwadde okuluma ejjiiko——————mbeera oba bintu kwongera kwononeka.
271. Ekiwundu okusamba eddagala———- mbeera oba bintu kwongera kwoneneka
272. Okulinnya abantu ku mitwe—————kubajooga
273. Okulinnya ku nfeete—————kuwangula kyobadde olwanyisa
274. Okukuba oluku mu mutwe—————–kuwangula
275. Okulinnya ebbaati————————–kulinnya nnyonyi
276. Okulinnya omuntu akagere————–kugoberera muntu nga tamanyi oba okumulondoola nga omunonyerezaako
277. Okulya ekimuli—————kusaza mu mboozi ya muntu nga abadde anyumya ggwe n’oleetawo eyiyo.
278. Okusala omuntu ekirimi—————-kuyimiriza mu mboozi ya muntu nga abadde anyumya ggwe n’oleetawo eyiyo.
279. Okukongooza ebigere—————-kunyooma
280. Okukkirira ewa Ssenkaaba———–kufa
281. Okugenda e Kalannamo etegenda badda——————————kufa
282. Okukyala (kugenda) ewa Walumbe e Ttanda——————————kufa
283. Okugenda ennyindo gye zirembekera mukoka——————————kufa
284. Okugenda emikono gye girerera ebisambi——————————kufa
285. Okugenda gye batambuliza omugongo nga obwaato——————kufa
286. Okussa omukka ogw’enkomerero——————————kufa
287. Okumiza (omukka) omusu——————————kutta muntu
288. Efumbira omuntu okuvuunikibwa——————————kufa
289. Okugenda okulunda embogo———————————–kufa
290. Okugenda enviiri gye zittira ng’omuddo——————kufa
291. Okugenda ezzira kumwa——————kufa
292. Okugenda ekingi bantu——————kufa
293. Ennaku okuyonka omuntu butaaba————muntu kulaba nnaku nnyingi
294. Enkalu okunoonya obukongovule—————bintu kukaawa/ kuva mu mbeera okunyinyittira
295. Embooge obutabuguma———–kuyita mu bwangu ennyo
296. Akataayi obutasala kkubo———–kuyita mu bwangu ennyo
297. Mu kaseera mpaawe kaaga———–kuyita mu bwangu ennyo
298. Mu lutemya lw’eriiso———–kuyita mu bwangu ennyo
299. Okudduka ez’embwa (embiro)————okwanguwa ennyo okutukiriza ekintu
300. Okutyekula engere——————–kutambula nga oyanguwa
301. Okusika ez’e Luzira——————————–kwewulira
302. Okwebaka emboge—————kwebaka nnyo
303. Okwebaza eyazimba————–kwebaka ng’ofuluuta
304. Okufuuwa ekinyanyimbe————-kwogera bulungi (nnyo) Olungereza
305. Okugenda mu nsowera/obunyonyi—————kukeera nnyo
306. Enkoko okugikwata omumwa—————————kukeera nnyo
307. Eddaaza——————–mwaka
308. Ezzooba——————mwezi
309. Ddimansi—————-sabbiiti (week)
310. Enzingu/oluzingu—————lunaku

ENNAKU ZA SABBIITI
i. Kazooba———–Monday
ii. Walumbe———-Tuesday
iii. Mukasa————-Wednesday
iv. Kiwanuka———–Thursday
v. Nagawonye———Friday
vi. Wamunye ————–Saturday
vii. Wangu ———–Sunday
EMYEZI MU LUGANDA
i) Gatonnya——–January ii) Mukutulansanja——-February
iii) Mugulansigo———March iv) Kafuumuulampawu——April
v) Muzigo—————-May vi) Ssebo aseka—————-June
vii) Kasambula———-July viii) Muwakanya————-August
ix) Mutunda———–September x) Mukulukusabitungotungo/Ttogo—October
xi) Museenene———November xii) Ntenvu———–December

AMASAZA GA BUGANDA ABAGAKULIRA N’EMBUZA Z’AGO
Esssaza Alikulira ne Embuga y’essaza eryo
1) Busiro Ssebwana – Ssentema
2) Mawokota Kayima – Butoolo
3) Kyaddondo Kaggo- Kasangati
4) Ssingo Mukwenda – Mityana
5) Butambala Katambala – Kabasanda
6) Ggomba Kitunzi – Mpenja
7) Mawogola Muteesa – Ssembabule
8) Buvuma Mbuubi – Magyo
9) Kkooki Kaamuswaga – Rakai
10) Kabula Lumaama – Lyantonde
11) Buluuli Kimbugwe – Nakasongola
12) Bugerere Mugerere – Ntenjeru
13) Bulemeezi Kangaawo – Bbowa
14) Buweekula Luweekula – Mubende
15) Busujju Kasujju – Mwera
16) Kyaggwe Ssekiboobo – Ggulu, Mukono
17) Ssese Kweba – Kalangala
18) Buddu Ppookino – Masaka

311. Ensimbi okwekisa mu kikande————kuba nga tezirabika
312. Omulenga njuba————-ssaawa
313. Omutega nsowera————kkanzu
314. Ekizibaawo——————-kkooti eyambalwa
315. Sseppeewo——————-enkofiira
316. Enkampa——————–Masiki
317. Ebiraato———————-engatto
318. Akafulaano——————vesiti (vest)
319. Okusanga ekiyumba munyae———–kusanga nnyumba enkalu nga ababaddewo bagenze
320. Okuba mukubya byayi—————-muntu kuba nga tagunjula baana
321. Okuba ente y’abato———————Kyekiwuka ekitaluma
322. Okubalaata————————-kusaaga
323. Okutuula omuntu mu kifuba————-kumutwalako mukazi
324. Endeereetu———————————-leediyo
325. Akamansukira——————————kazindaalo akoogererwako
326. Kaasuze katya————————–amafuta agatwalibwa kumakya nga omuwala agenda okufumbirwa anonebwa
327. Omutwalo——————————ettu ly’enswa, edda baalikozesanga okugula omukazi oba okuwa omusolo nga ssente tezinnabaawo
328. Okusekera mu kikonde—————-kufuna kintu kireeta ssanyu ate nga kyandibadde kyamulala
329. Okusibako amatu g’embuzi okuliisa engo—————kukuwaayiriza
330. Okukuba omuntu omutwe———-omuntu asooka  okkusanga nga otandika olugendo
331. Okulima empindi ku mabega————-kuyeyereza muntu nga omuvuma obutaweera
332. Okuba matankane ng’empale z’abaseveni—————butaba na ludda lutuufu w’ogwa.
333. Okwetala nga namutale omunyageko ente ye—————okudda eno neeri nga okukola ekintu
334. Okwagala omuntu nga akageregere————-kumwagala nnyo
335. Okutunda omwoyo ng’enkoko emira ensanafu———kwewaayo kukola kintu kiyinza kukuviiramu buzibu (kizibu)
336. Okussa omuntu akasiiso ow’endali kassa omukukumi——–kusiriikirira muntu nga akola ensobi ate ogitegedde
337. Okuba katula keebisse buka——–kuba mukambwe nnyo era owomutawaana
338. Okwekwata omusoobooza———kubeera nga weetya
339. Okulimba Mukasa nti Wannema mulwadde——–kulimba kintu kirabikako
340. Okugalinnya gye gava————kwettira mikisa
341. Okulimilira omuntu—————-okwogera ebibi ku muntu nomukyayisa munne oba abantu abalala
342. Okwetema engalike————kwogera bikontana ku byasoose
343. Okujja obukula/obubogo——–kujja nga omaliridde
344. Okuloopera omuganzi mu nzikiza———kutawaanira bwereere
345. Okuliisa ebijanjaalo empiso———-kugayaalirira kintu kya bulabe
346. Okubeera enkoboli y’omusajja ——-kubeera muzira
347. Okubeera kagumba weegoge———kintu kuzibuwala ne kisinga bwe wakisuubidde
348. Okuba nga tonyigirwa mu tooke———obutaba mwangu
349. Okuba embalangu————-kuba nga okola ebiswaza, nga teweewa kitiibwa
350. Okwogera olulonda kambe———-kwogera nga tomaliriza ne bakwetamwa
351. Okubeera omulangaasa————–ye muvubuka atawasangako
352. Omusajja omuwuulu—————ye musajja atalian mukazi
353. Okubeera enteeka——————ye muwala atamanyi musajja
354. Omwana nnaatuukirira———–mwana mulenzi
355. Okuzaala Sukaali ———- okuzaala omwana omuwala
356. Omwana ggannemeredde————-mwana muwala

ENJOGERA N’EBISOKO EBIGERAAGERANYA
357. Aleega ekifuba nga enkoko eri ku luti————kutwalira kifuba mu maaso nga okireeze
358. Awejjera ng’owoolufuba atakkuse lumonde——-kukololakolola buli kadde
359. Atitibana ng’atuga omulalu—————kukola kintu nga okankana
360. Okwebaka kaboleredde ng’omunafu omulekere obuliri———kwebaka nnyo
361. Kibula abuuza nga erigenda e mugga———kintu kuba nga kirabika
362. Weetema engalike nga akaabira abaafa edda——-kukola kintu kitakyagasa
363. Weeringa ng’omunafu alima asalira———–kukola bintu nga tebinyiridde
364. Weefunuggula ng’omunafu alima awagonda—–kukola kintu nga okozesa amaanyi mangi naye ate nga tekyetaagisa kukozesa maanyi mangi.
365. Atunula sseddoolo nga omukadde ayogereza——-kutunula nga osobeddwa
366. Gujabagidde ng’omunafu azadde kaliira————mbeera kwonooneka
367. Okuba bulatti nga omussezi ali ku limbo———–kubeera musanyufu nga tolina kikwerariikiriza
368. Okuyimba nga ennyonza———— kuyimba bulungi
369. Okusitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi——-kwanguwa kukoka kintu
370. Okuba mannyangwa nga lumonde w’omukibanja——-butalabikalabika.
371. Okufuga abantu nga obudde————kufuga bantu nga obatuntuza
372. Okuteeka nga aga Lubigi————-kuba mu mirembe/muwombeefu
373. Okuyita kuli nga mufu y’awunya———–kwewulira
374. Kusaambira mabega nga jjanzi————kusanyuka nnyo
375. Okutunula bakimpe nkirye gy’oli ab’emiryango tebakyagala ——kutunula nga weegwanyiza/weeyagaliza.
376. Okufunya emimwa nga ayita abaffe————-kwogera nga ofunyizza emimwa
377. Okugabattukana nga agabana ebikaawa——-kutambula ng’opapa ne bakwekokkola
378. Okwasaamirira nga agabanye ebikaawa——–kutunula nga oyasamye
379. Okugaala emimwa nga ayita Ana——–kwogera nga oyasamye
380. Okuginika amannyo ng’embwa eggya obubi mu ssubi——kuseka ne mu mbeera eteetaagisa.
381. Okutunula kyamuli nga essalambwa ery’ensenke———-kutunula nga towadde kintu birowoozo
382. Aseka bbuniza nga asaba bba enseko————kuseka nga weebwalabwala
383. Okwekutyera nga ayalira atajja————-kukola kintu ekitagasa
384. Gumuli wamu ng’alya ne muganzi we eky’eggulo———kuba nga teweerariikirira
385. Gumuli ku mutwe ng’eyabuulira ow’olugambo——-kweraliikirira
386. Ayogera nga gwebaasala akanyata———muntu kuba nga ayogera nnyo
387. Kalonda nga omusiri gw’omunafu——–kuba nga bintu bingi biri mu mugotteko
388. Ayogera kirabika nga ow’ejjanga abika———-kwogera kirabika
389. Atambula sserebu nga eyakwana ogw’okumpi——kwetala nnyo mu kifo
390. Okweyisa ng’owakagatto akamu——-kwetala nnyo
391. Yeetiiyuula nga omuganzi atalina kabina———kukola kintu nga tofaayo ku balala kye boogera
392. Akunaamiriza nga alega jjuule———kukutaamirira
393. Akabina kamulinga ak’ensejjere eyingira enkata——–kuba na kabina kaakikinala
394. Yakula butalaba nga kiwojjolo——-kubeera nga byokola tebigya mu myaka
395. Kukuza mutwe nga mmale——— kubeera nga byokola tebigya mu myaka
396. Amatama gamubyabyatadde nga lumonde omulinnyire mu mulyango——kuzimbya matama
397. Okulebera emimwa nga ccapati ennumeko—–kulebera mimwa
398. Kutunula kalyolyongo nga embwa eyota ekikoomi——–kutunula nga osobeddwa
399. Kutunula kimpeewuukirize ng’embwa erwazizza nnazaala———- kutunula nga osobeddwa
400. Abyangatana nga Nnasaza agaba magera———–kutuula nga osaasaagana
401. Okusitunkana nga gwebaloga ekiwunyo———– kutuula nga osaasaagana
402. Ayuguuma nga balugu atannaba kukwata mutuba——-kubeera nga otagala
403. Amaaso gamwesimbye ng’emmandwa y’engo———-kukanula maaso
404. Akanula amaaso ng’enkoko enywa mu lwendo———— kukanula maaso
405. Atolotooma ng’empanga enyweddemu mazzi amanaabe mu ku kyalo kwe kulidde————kugenga nga weemulugunya, nga tomatidde.
406. Yewombeese nga eggole eririba ejjombi——–ku mize nga okyali mugenyi
407. Atunula gammyanssa nga omufumbo amira agookya——–kutunula nga ebizibu bikweraliikiriza.
408. Yaddugala nga enzinziiri———-kuba mudddugavu kagongolo
409. Yeetiiyula nga nnamwandu akuba embaala——–kwessa ku byotosobola
410. Yeesimbye jjaali nga omusezi asusa eryenvu——–kuyimirira butengerera
411. Okwesimba nga ssettaala mu lutobazi—————- kuyimirira butengerera
412. Okwebwalabwala ng’olubwa olubbi————–kubeera nga weekomomma / weetya
413. Okwegiriisa nga ekigotta entula———–kweyagala nga teri akugambako
414. Okweyagala ng’obulago bw’enkoko obutasibwamu mugwa(muguwa)——kweyagala nga oli mu mirembe
415. Okuniigiina nga sseddume eyasizza entamu nti bananfumbira wa?— kukola nsobi ate n’otadda mabega kutereeza bisobye
416. Okwereega nga akakammula kkwete———kwepanka ku byotaasobole
417. Okuyitirayo nga omulongoose————-kugenda n’otadda

EBISOKO N’ENJOGERA EBY’ENNONO

Bino bye bisoko ebirina ennono, ensibuko n’obuvo kwe byava okutandika okubikozesa

418. Okuba ogw’e Kanyanya (musu) ————-kugenda n’otodda
419. Okutema ku lw’e Nnamuganga (lwazi)————kutema wwakaluba
420. Eyayalula omuntu okusiriira (nkejje)———-kulaba nnaku/ kugwa mu buzibu
421. Okukuba ey’Abageye—————kutuula nga totereera
422. Okussa ku w’e Mbuule (ssezinnyo)———-kulya oba kugaaya
423. Okukwata Kalambi ne Bira————kuliraanagana nnyo
424. Okuva e Bule n’e Bweya————–kintu kuba kigazi/ kinene
425. Okukwagana Bbuzu ne Mpumu——-kuliraanigana nnyo
426. Okuliraanana Kawempe ne Ttula——kuliraanagana nnyo
427. Okwegoba ku muntu nga Ssemukkuto bwe yeegoba ku bali b’amayenje———-kubaviirako ddala
428. Okukwatira Ssebatta ensawo———kwereetera bizibu
429. Okuzza ogwa Nnamunkukulu———-kuzza musango munene
430. Okwesuulirayo ogwa Nnaggamba (mwoyo)—butafaayo ku kintu kya mugaso
431. Okuba omutaka w’e Misindye (Nnamutwe)————-kuba mutwe mukulu mu kintu ekikolebwa
432. Okubeera omutaka w’e Nnamataba (Mulindwa)———-kubeera nga ggwe olindibwa
433. Okukongojja Ndawula———————kuba mulwadde wa lukusense
434. Okkuba omulere gwa Ssuuna———kwogera kintu kimu lutata
435. Okusasula omuntu nga Ssuuna bwe yasasula abaziba————-kunyaga muntu
436. Okuba omutaka w’essambwe (Nnabugwamu)———–kweyingiza mu mboozi etakukwatako
437. Okuba akafukunya akaagula Mukono (Kyaggwe)———–kintu kuba kingi nnyo
438. Okuba n’ogwa Nnanteza (omukisa)———–kuba na mukisa ogutasangika
439. Okukuyisaako ow’e Mbuya (Kaggo)———-kukuba muntu na mbooko
440. Okusanga omutaka w’e Kalungu (Ssemusota)————–kusaanga musota
441. Okuwona Mayanja ow’olusenke————-kuwona kabi akaamaanyi
442. Okukwata mu ka Waliggo (Kasawo)———–kukwata mu nsawo ofunemu ssente
443. Okuwerekera Mpinga mu Kibira—————kwereetera bizibu nga olaba
444. Okulya ng’eyasimattuka Kkunsa—————kulya nnyo
445. Okwesiba Kinnaggayaaza
446. Okutuuka omuntu nga Nnalunga bweyatuuka Jjuuko—–kwagala nnyo muntu
447. Okutuula mu za Mugula————kutuula mu ntebe
448. Okutuula obukonge Ndawula bweyatuula e Buwaali———-butava mu kifo
449. Okutuula ntitibbwa Mirimu gye yatuula mu Ndejje———- butava mu kifo
450. Okutwala omuntu nga Mwanga———-kutwala muntu bubi
451. Ennyumba okuba nga eya Mugogo e Ssanyi———kuba na miryango mingi ate nga nnene
452. Kimyanku okuba nga ye Mugabe———mbeera ya lusaago(ekisa) okuggwaawo
453. Okuba omutaka w’e Ddambwe(Kiggala)——-kuba nga towulira
454. Okubuuza Ssaalongo endeku————-kubuuza kintu kirabika
455. Okuyita Ttembo—————-kugwa ddalu
456. Okuyita ssikaala e Buddo———-kwesiima olwokufuna ekirungi
457. Okwogera olwa ssenkoole———-kwogera bigambo nga tobimalaayo
EZIMU KU NGERO ENSONGE
Zino ze mboozi ennyimpimpi nga zirina amakulu amakusike geziwa omuntu kyenkana buli mbeera erina olugero olugenderako. Wano omuntu asobola okwogera nakomya mu kkubo omulala n’amalayo
1. Asimba kasooli, tamulya makoola amulinda kwengera.
2. Atega ogumu, taliira.
3. Abikka ebbiri, tabojjererera
4. Awagwa enkuba tewagwa njala.
5. Ayeeyereza omunafu, yamulwanya.
6. Bazibumbira kwatika, neziremera mu kyokero.
7. Bakubuulira lwe mukoko, olaata?
8. ‘Balikomya eyo ne bazza’ ye Munyolo agenda.
9. Bbugubbugu simuliro, essanja teriggisa mmere, nga gwagifumbira tamwagala.
10. Bwekataligirya,eribiika amasumba
11. Ekikozza alima, ky’ekimunnyula.
12. Ekiri ewala,mpenduzo y’ekigya, amalussu ga nnazaala ogalabira ku mmindi
13. Ekitatta muyima, tekimumalaako nte.
14. Ekitta obusenze, buba bunaanya.
15. Ekyengera amangu, kivunda mangu.
16. Embiro entono, zikira okwekweka.
17. Endege ziba nyiingi, ne ziyomba.
18. Enkoba z’embogo, zeggya zokka mu bunnya.
19. Enkumbi kubula, ewa munafu mpoza.
20. Ennindiza, y’amezza Ssemitego.
21. Ennume, ekula bigwo.
22. Ennyonyi eteyise, y’ekololera makayi.
23. Ennyumba, ezimbwa ku bugenyi.
24. Entamu, ewulira muliro gusooka/ mubereberye
25. Ettooke, oliwanirira likyali ku mugogo.
26. Eyeesitukidde, tannywa matabangufu.
27. Ezinaabala, teziranda ggobe.
28. Gannyana ganywebwa muwangaazi
29. Kagubiiru ng’omutwe g’omunafu, gugendera mu nku guddira mu matooke.
30. Kalonda, ng’omusiri gw’omunafu.
31. Ka maanyi, kaliibwa na mbiro.
32. “Kange”, kakira ‘kaffe’.
33. Akeezimbira, tekaba kato, okukwata akasanke ogenda osooba.
34. Ke weerimidde, kakira mbegeraako.
35. Kibaawo, ng’ekibugo ekikuuma empindi.
36. Kikonyogo, bakikasukira kulaalira ne kidda na birimba.
37. Kiriba edda, mmese ya ku matala.
38. Kitta, “nkimanyidde”, enyanja etta muvubi.
39. Koonooweeka, tokalinda kusaaba ttaka
40. Koosima, k’olya
41. Linda kiggweeyo afumita mukira
42. Mazzi masabe tegamala nnyonta
43. Mirimu gya mu ttoggo, gikooya buli omu
44. Muka omubumbi, aliira ku luggyo
45. Mu nkyamu, mwe muva engolokofu
46. Mpande emu, eyiwa ekisero
47. “Mpolampola”, ayiisa obusera
48. Omukalukalu, tajja busera, bwe bumwokya nti “buntuuse we mbwagala”
49. Ndyebaza ndya, tagunjula munafu
50. Kiiso kya mbuzi, kirekerera omussi ne kitunuulira omubaazi
51. Kiseke kyamunyumya, kijjula malussu.
52. “Nkizzizzaawo”, akira kinkutuseeko.
53. Obusenze, bukala mmuli.
54. Obwato, bufa magoba.
55. Ogutateganya, teguzza nvuma.
56. Okuwummula, sikutuula.
57. Okuwangaala, ensejjere egula omuddu.
58. Olima awatono, ne wattira.
59. Lwoya lwa munyindo, olwegya weka.
60. Omugobo, taluma ngumba.
61. Omugoba amagamaga, y’agobya eryato ku mayinja.
62. Omukabakaba, bamusiima azzizza jjooma.
63. Omukazi omulima akwiisa engabo mummere.
64. Omukulu bwatak wata mu kisibo, embuzi zifa nnaganga.
65. Omulalu akuwera, w’otwalira.
66. Omumpi w’akoma, w’akwata.
67. Omunaku eyeegulira, y’alya akawera.
68. Omunaku kaama, yeerandiza yeka.
69. Omusajja kikere, kyeggya kyoka mubunnya.
70. Ow’ekikye talemererwa, enjjovu teremererwa masanga gaayo.
71. “Siiyimbe mwana na ttooke” nga gyava akkuta.
72. Ssossolya bwatafa, atuuka ku lyengedde.
73. Sserukama mayute, bwe baakwata ku lirye nga awoloma.
74. Omwogezi tatenda bibye, atenda bya banne.
75. Omweyogereze, takusuuza kayanziko.
76. Ssebaggala miryango, nebeerabira emyaganya.
77. Ssebugulu bwannyomo, bukaza omuwanda.
78. Ssemutego tegulwala mugongo, nga kyebaagutuma tekinagukwata.
79. Sseruriika, terulumba kyerukola.
80. Totta kibe, nga tonakikenenula ndussu.
81. Wakamwa, tabulako musiri gwe.
82. Abalirira ekigula enkumbi, tawa munne ssooli ddene.
83. Abangi bwe bakwebaza nga luweze.
84. Abangi webasimba olunwe we kyabikira.
85. Ab’empaka ababiri, tebawala luga.
86. Ageya Nnanfumbambi, yeeteesa.
87. Ajjukiza busemba, y’agikuba.
88. Akuddira mu luyimba, taluwoomya.
89. Akujjukiza, akira akuvuma.
90. Akusuubiza, akira akuma.
91. Akwatulira,akira akugeya.
92. Amaaso amati, galamusa nnyinimu.
93. Amagezi,muliro bweguzikira oguggya wa muno.
94. Amagezi ntakke,ekula yeebuuka.
95. Anaakuggya ennimi, ageya nnyoko ng’olaba.
96. Amagufa, tegaweerezebwa.
97. Akuvuma obuto, tassaako magufa
98. Asaba “Ndikuwa”, ng’asaba eryenvu erimu.
99. Asenguka, akwaliza bisulo.
100. Asimaasima akatiko, y’akaggyako omukonda.
101. Atakumanyi, azikuyooza mu mulyango.
102. Atamanyi busungu bwa mu ddugavu, amutikka ntamu.
103. Atannayitayita, y’atenda nnyina okufumba.
104. Atanaziraba y’asekerera ajeera.
105. “Zirindaba olwange:, tawa musibe mmere
106. Awali omulema, tewaweterwa lunwe.
107. Bakugoba mu nnyumba,nti “Nnaasula mu mulyango?”
108. Nnampulira zzibi, nti “Balo embogo yamutta”,nti “bwatyo bwazifumita”
109. Bweyinda, sibwetonya.
110. Bw’olaba nnamunye atubidde, ggwe ow’embuzi ngogoba?
111. Bw’osekerera ekibya, oba osekerera yakibumba.
112. Siwa muto lugero, nga talumanyi
113. Ebirungi birekwa, Nsingiisira yaleka omuwemba.
114. Eggwanga ly’okumpi, terirwala kudda.
115. Ekibimba, kikka.
116. Ekifo ekimu, tekisaza magezi.
117. Ekkubo erimu lyassa wamusu
118. Ekimala empaka, kusirika.
119. Ekinyumu ekingi, kireka emmese obuwuulu.
120. Ekiri muttu, kimanyibwa nnyinikyo.
121. Ekitali kyogerere, kizimba ku mwoyo.
122. Ekitta engo, kigiyinga buzito.
123. Ekisa kitta, n’enge etta.
124. Ekisirisa afumba, ajja okulya takimanya.
125. Ekiwola bakikwasa ngalo, eddiba ly’engo balyesiba mu kiwato.
126. “Ekkumi, terikyawa omu”, ng’aliko eyamubuulira.
127. Emmeeme etejuuba, ekwogeza muno kyatalyerabira.
128. Emputte baaziwakulya Masaka, ne zirya Kasaka.
129. Emyungu emiwaagiikirize, gyasa entamu.
130. Endiga okusulika omutwe tekigigaana kumanya mbuzi gye zikute.
131. Engalo ensa, ziwoomera nnyinizo.
132. Enjogera mbi teyuza bulago, singa obw’eŋŋaaŋa bujjudde nkindo.
133. Enjogera ennungi, ezimbya ekiswa ku nju
134. Enjogeziyogezi, etuuka nnyinimu ku muze.
135. Ennaku musana, tegwokya omu.
136. Ennongoosereza, emasula omutego.
137. Ensisinkano teba ya lumu, enkejje amazzi egaleka mu nnyanja negasanga mu luwombo
138. Kye walyanga bwolaba ennaku nga olekayo
139. Entamu ennyangu, bagitenda ngyo.
140. Entasiima, ebula agiwa.
141. Eryampiteeyite si kkubo.
142. Eryokanga n’etonya, netulaba ensisira bwezenkana emyoyo.
143. Essessema erimu, terikuziza ntula.
144. Eyeewa ez’omumba, gwebazikuba.
145. Eza kalimpaka, zinyagibwa mu ssaazi.
146. Gwaka nga misana, k’akiro tabulamu.
147. Gw’omenyera mu nkejje, ewuwe alya luti.
148. Gw’ossussa emmwanyi, omusanga ku mayanja nga y’awungula.
149. G w’otoolise, takwonera kikyo.
150. Gw’otoyise naye, mwangu kulimba.
151. Gy’otega ama gwa, gyebakugoba bakuzza.
152. Gy’otosula, togerekerayo bibya.
153. Kameze mu lugya ng’osima?
154. Ka mukago okalya dda kadda dda, ejjobyo liddira mu mutwe.
155. Kamwa kabi kassa “siroganga.”
156. Kayemba nnantabulirirwa, alisaabala obw’ebbumba.
157. Koogera ekibi, nekatatuulira awo.
158. Kwemmembekedde, ng’eyawakati.
159. Mubi nga nsanja.
160. Omugezi awubwa, amatu tegawulira vvumbe.
161. Munnyumba, temuba kkubo.
162. Mu matu, temuli mazaana.
163. Nabyewanga nga akaliga akalira mu nte.
164. Nakamwa, ntette.
165. Namuŋŋoona ebbala erimu, terimubuusa na nnyange
166. Nantaggwa buto, ng’akafuba kennyonyi, ak’enti n’akenkulu babubaaza bumuli.
167. N’asirika amanya, ekikere bakibukira kwamusana, ne kikaaba kwa nkuba.
168. Nkumanyi muze, takulinda kwetonda.
169. Obusungu mugenyi, akyala n’addayo.
170. Okuddiza guba mwoyo, emigga giddiza ennyanja.
171. Omubi anyumya, akira omulungi akuumiira.
172. Omubuulirwa, akira eyalaba.
173. Okuzaala kulungi, nga gwatuma amuwulira.
174. Omugezigezi, akuguza ekibira.
175. Omulya mmamba aba omu, n’avumaganya ekika kynna.
176. Omukka omungi, guyuza akawago.
177. Omuvubuka atanyumya mbuzi ya Zzigeye, bwegwa mu luzzi ekala lwa ggulo.
178. Omwana kinyumu, tayombera nkolo.
179. Omweyogereze, takusuuza kayanzi ko.
180. Osaagira ku gwewa li osagiddeko, evvuuvvuumira terigwa ku munnyango.
181. Ow’akamwake, y’akagerera ennoga.
182. Ow’ebbango bwotomuwemukira, teweebikka.
183. Owennimi alaba, ekimutta kuwalira.
184. Sseggwanga gy’akoma okwereega, n’emiwula gye gimukoma obugumu.
185. Ssebageya nnyonyi, nga nnamunye ali ku nju/ kitikkiro.
186. Teweetenda bulima, nga ku nsambu kwebalaba.
187. Wambwa, teyeeraba kimuli ku nnyindo.
188. Wwambwa aludde, nga n’ebigobero
189. Ekiwumbya engalabi, mwenge kubula
190. Weebale weebale, amala ebintu.
191. W’otonnava, toyonoona mu kisulo.
192. W’ova toyombye, w’otera okudda.
193. Abalungi ndagala nnamu, teziggwa mu lusuku.
194. A’bomugumu baba bakaaba, nga ab’omuti baseka.
195. Akajja obunaku, keemanya, ejjanzi teribuuka na nzige.
196. Amagezi gasalwa luva nnyuma, enkonge emala kukuba n’olyoka obuuka.
197. Amasonyisonyi, gassa olugave.
198. Bw’ogoba musajja munno, ebiro olekamu ezinadda.
199. Ebigwawo tebiraga, wandiga atambula n’omwana we.
200. Ebitali byetegekere, bwebiba embwa bwebagikuba omukalo edduka.
201. Ekijja omanyi kinnyaga bitono, ekiddukano tekimala byenda.
202. Ekizeezengere, kitta wa mputtu.
203. Embuulirire, tefa yonna.
204. Emmwanyi gyeweesiga, yetebaamu mulamwa.
205. Engabi y’ewala, yekaluba ennyuma.
206. Enswaswa eteeyanula, y’ereega engalabi.
207. Eyeemanyi amalwalira, tatega ŋŋaali.
208. Gw’omanyi enfumita, tomulinda kugalula.
209. Kaabulindiridde ng’enkonge yo ku kkubo, bwetekukuba magenda, ekukuba madda.
210. Kaliba kasajja, kakuliisa engo.
211. Balubuuliza mbazzi, nga luli ku muddo lugaaya
212. Kambukire baaba w’abukidde, kwe kugwa mu ntubiro.
213. Kibojjera ku lwazi, kyesiga mumwa bugumu.
214. Kiwombe, y’eyiwa amata.
215. Ky’osimba onaanya, ky’olyako ettooke.
216. Lukka ennyanja, telureka nkanga.
217. Namwemanyidde, ng’omukadde atabaaza embazzi.
218. “Ndi mugezi”, nga mubuulire.
219. Obuteebuza, butambuza amazzi ekiro.
220. Oguli omwa munno, tegugoba ngo.
221. Okwerinda sibuti, ensanafu etambula egaludde.
222. Omukisa gwa munno, tegukusigula, embwa bweyita mu lumonde tebagifaako naye bagigobamu na miggo.
223. Omuweesi ekyamuzimbya ku kkubo, kulagirirwa.
224. Oyita ewala, n’otuuka mirembe.
225. Ssebusiru bwa njoka zitta nnyinizo, nti mwe munalamirawa.
226. Ssekabwa kaali kakulumye, bw’okalaba okadukka.
227. Abakulu n’abakulu tebaseerana mukubi, nga siza munnyo.
228. Akamira eyiye, tagiseera mata.
229. Amatu g’omubaazi, gawulira kya “Mbwa etwala ennyamayo”
230. Amaze n’assaako okuluma.ETTOGERO LY’EBISOKO N’ENGERO
Ebisoko bye bigambo oba enjogera ez’enjawulo ezagunjizibwawo bajjajja ffe nga zirina amakulu amakusike okuva kw’ago agabulijjo abantu gebamanyi. Okukozesa ebisoko kiraga obukugu n’okunyumisa Oluganda.kale faayo nnyo okubikozesanga obutabyerabira!!!
Ebisoko ebya Lukale ebimu bye bino n’amakulu g’abyo. Naawe yongera okunoonyereza kubanga byo bingi era tebiggwaayo.

 

Exit mobile version