Site icon Uganda Today

Oluganda N’ammannya G’emyeezi N’emyaaka

Kasooli

Abaganda Abedda baatuumanga ammannya ebintu n’ebifo nga basinziira ku nsoga eziwerako. Wulira bino akuleetedde lwaaki ogw’omukaaga guyitibwa Ssebo Aseka

Ammannya g’ebiseera nga bwe biyitibwa mu Luganda.
Year – Omwaaka, kino kigambo kya Luswayiri naye mu Luganda olwaffe lwennyini omwaka tuguyita – Ddaaza
Month – Mweezi, kino kigambo kya Luswayiri naye mu Luganda olwaffe lwennyini omweezi tuguyita – Zzooba
Week – Ssabbiiti/wiiki, bino bigambo bigwira, mu Luganda olutuufu ennaku omusaanvu tuziyita – Ddimaansi
Date – Ennaku z’omwezi, bino nabyo bigambo bigwira, mu Luganda tugamba nti – Enzingu e.g. 11th Nov – ng’enzingu kkumi nalumu mu zzooba erya Museenene
1. January – Gatonnya
Mu biro eby’edda ezzooba lino lyabanga lya kyengera, era ng’amatooke geengerera nnyo mu nsuku. Abaganda baagambanga nti: Owange, amatooke mayitirivu obungi, gano gatonnya butonnyi!
2. February – Mukutulansanja
Mu kiseera kino mu Buganda, ng’essaanja liggwera ddala mu nsuku, anti olw’omusana ogwayakanga okwekutula okuviira ddala mu Ntenvu (December) okumalako Gatonnya! Abaganda kyebaavanga boogera nti, guno omusana Mukutulansanja!
3. March – Mugulansigo
Mu kiseera kino, Abaganda mwe baateekerateekeranga ennimiro n’okunoonya ensigo ez’okusiga ng’eddaaza likkiridde. Bajjajjaffe nebasalawo ekiseera kino okukituuma Mugulansigo.
4. April – Kafumulampawu
Mu kiseera kino enswa Empawu mwezibuukira nezefuumuula okukamala. Era ekiseera kino kye kiva kiyitibwa ekya Kafumulampawu!
5. May – Muzigo
Mu kiseera kino enkuba etonnya nnyo (Enkuba eya Ttoggo) kale ebirime nebigingimuka nnyo era nebibala emmere nebikatagga. Ate ebisolo ebizaalibwa mu kiseera kino, naddala enkoko, tebitera kukula olw’obutiti obuyitirivu. Kale bajjajjaffe nebasalawo ekiseera kino okukiyita ekya Muzigo.
6. June – Ssebo Aseka
Ekiseera kino kyabanga kya kyengera ekya kasooli era nga bwe mumanyi, ensiri zaagala nnyo ebimera ebikutte ekifuko. Kale ensiri zaabanga nnyinnyi nnyo era nekireetera abantu okulwaala omusujja (Malaria) kyokka ng’endwadde eno tebagimanyi. Olw’okwagala okufuna ku kabugumu, Ssebo (musajjamukulu ssemaka) yafulumyanga ku katebe ke akolugalaamirizo oba akaliba ke, n’agalamirako mu luggya mu kasana asobole okufuna ku kabugumu. Mukazi we yayokyanga kasooli era nga kasooli ayidde, yatumanga omwana nti: atwalire kitaawo kasooli ono alyeko. Omwana naye teyabanga mubi, ng’akikola.
Olumu Mukaziwattu  yageranga ekiseera era ng’ategeka bulungi omusooli omulala ng’addamu okutuma omwana. Omwana bweyatuuka ku kitaawe, yasaanga kasooli gweyasoose okuleeta ng’akyali awo; ssi mukwateko ate nga taata amannyo gali kungulu! Anti bambi nga musajjamukulu yasomose dda, lututte ffenna abaatusooka gye baalaga. Mu butamanya, omwana yayita kitaawe nti: Taata, taata, nkuletedde kasooli omulala wuuno olyeeko. Kyokka oli nga teri kanyego. Omwana yalowooza nti taata ali mu kumusekerera era kyeyava akomawo ewa nnyina n’amugamba nti: Ssebo aseka busesi! Nkanda kumuyita naye ye ansekerera busekerezi! Awo nno bajjajjaffe ekiseera ekyo nebasalawo okukiyita – Ssebo Aseka!
7. July – Kasambula
Mu kiseera kino omusana gwaka kitonotono, kale abantu ab’edda beeyambisanga ekiseera kino okusikambula mu nnimiro ebisoolisooli ebikaze n’okulima omuddo okuguggya mu bisaambu byabwe. Wano bajjajja kyebaava batuuma ekiseera kino – Kasambula.
8. August – Muwakanya
Mu kiseera kino mubaamu enkuba etonnyerera ate ng’erimu okubwatuka kwa Laddu (lightening). Abaganda ab’edda kino bakivvuunulanga nti enkuba eno eraanga okujja kw’eddaaza essajja (Male Year) eriyitibwa Ddumbi era erirwanyisa eddaaza ekkazi (Female Year) eriyitibwa Ttoggo. Kale bajjajja ekiseera kino nebakituuma ekya Muwakanya nga bagamba nti: Ddumbi awakanya Ttoggo.
9. September – Mutunda
Mu kiseera kino enswa eziyitibwa Entunda mwezibuukira, kko bajjajjaffe nti: owange, kino ekiseera kya Mutunda!
10. October – Mukulukusa Bitungotungo
Bajjajja bwebaalinga bakungula entuungo (ennyaga), emu yayiikanga mu nnimiro. Kale oluvannyuma lw’enkuba eya Muwakanya, entuungo eno yamerukanga. Naye mu kiseera kino, enkuba yeeyoongeranga obungi era okukkakkana ng’ekulukusizza entuungo eno ento eyabanga emeruse. Kko bajjajjaffe nti: Eno enkuba Mukulukusa Bitungotungo!
11. November – Museenene
Wano edda nga ky’ekiseera enkuba ey’olutentezi mweyatonnyeranga ate nga n’enseenene kawoomera mwezibuukira(bazzukulu ba Kalibbala munansonyiwa). Kale bajjajja ekiseera kino nebakituuma ekya Museenene.
12. December – Ntenvu
Mu kiseera kino ku ttale ebaayo ebiwuka ebiyitibwa entevu nga bingi ddala era bajjajja kwekutuuma ekiseera kino nti kya Ntenvu.
06:00 a.m. Lubungubungu oba Maliiri
Wano Omuganda ow’edda weyatera nga okukkirira mu nnimiro n’atandika okukakkalabya ogwa kidima (enkumbi).
09:00 a.m. Emmindi esooka
Wano Abaganda webaawummuliranga okuva ku lubimbi ne balyoka bakoleeza emmindi zaabwe nebafuuwako. (Si kuloga, wabula kuwummulako)
10:00 a.m. Kalasa mayanzi
Wano omusana gwabanga gutandise okuwoomerera era nga amayanzi gabuuka gava wano gadda wali. Omuzungu bwe yaleeta Chai wano Omuganda we yanyweranga chai.
11:00 a.m. Emmindi eyokubiri
Wano abakazi Abaganda webaatandikiranga okuwaata emmere n’okufumba eky’emisana, era n’okukoleeza emmindi baddemu banyweko.
12:00 p.m. Ttuntu
Omuganda ekiseera kino yakitwalanga ng’amasekkati g’emisana era ng’omusana gwaka okwememula.
1.00 p.m. Malya g’ekyemisana
Wano Omuganda weyaliiranga eky’emisana.
2:00 – 3:00 p.m. Ggandaalo
Wano Omuganda weyawummulirangako emmere emukke mu ntumbwe. Ekigendererwa ekirala kyabanga kwewala kutambula mu musana ogwe ebisolo ebikambwe n’emisota webisiingira okuba n’obukambwe obusukkiridde.
4:00 p.m. Akalabirizabazaana
Wano omukazi Omuganda weyatandikiranga okutegeka ekyeggulo
6:00 – 7:00 p.m Enjuba weegoloobera (sunset)
Wano Omuganda weyaliiranga ekyeggulo.
7:00 – 9:00 p.m
Wano abakulu baakumanga ekyoto nebanyumya ebyafaayo n’engero ez’abedda.
9:00 – 10:00 p.m. Kawooza masiga
Edda amasiga gaaberanga ga mbaalebaale oba njaziyazi, kale nga galwaawo okuwola. Ekkiseera kino kyabalibwanga nga amasiga wegawolera.
11:00 p.m. Ekisisimuko ekisooka
Wano Omuganda eyabanga yeebase oluvannyuma lw’emboozi y’ekyoto, weyasisimukiranga yeetegereze ebifa ebweru, ssi kulwa ng’ekyalo kizindiddwa.
00:00 a.m (Midnight) Ttumbi
Ekiseera kino kyabalibwanga ng’amasekkati g’ekiro.
1:00 a.m. Mattansejjere
Ekiseera kino enswa ensejjere mwezibuukira, era Omuganda anatta ensejjere, emisana yalinga ategese omumuli gwe ogw’okumulisa ensejjere nga zigwa mu nvubo.
3.00 a.m Kinywambogo
Wano embogo wezitandikira olunaku lwazo nga zitandika n’okunywa amazzi mu myala oba emigga.
4:00 a.m. Enkoko embereberye
Wano empanga wezisookera okukookolima, n’oluvannyuma neziddamu ku ssaawa ekkumi nebbiri (6:00 a.m.). Era wano wewaava n’okuyimba oluyimba nti:
Mukasa akeera, akeera ku nkoko
Mukasa akeera, akeera ku nkoko embereberye.
5:00 a.m. Mmaambya (dawn) Enkoko eyokubiri
Wano emmsambya eba esaze (nga ku ggulu kuzzeeko ekitangaala ekimyufu).
5:30 a.m. Matulutulu
Ku ggulu kuba kuzzeeko ekitangaala ekya kyenvu era obunyonyi butandika okukaaba oba okuyimba.
6:00 a.m. Maliiri oba Lubungubungu
Ekyeggulo – (supper) kino ky’ekigambo eky’Oluganda ekituufu okukozesa bw’oba otegeeza okulya emmere ey’akawuungeezi. Waliwo Abaganda abakozesa mu bukyamu ekigambo Ekyekiro nga baagala okutegeeza “Supper” oba emmere eriibwa akawuungeezi. Ekyo ekigambo kikyamu mu makulu ago era kiwemula.
Ekyekiro – Nnazzikuno (edda) ng’omusajja Omuganda bw’ava ku mboozi y’ekyoto, nga yeefubitika ensiisiraye era ng’agamba mukazi we nti: owange, kati katulye Ekyekiro; amakulu nti “Let’s play sex”. Kale nno bwekatakutaandanga n’okikubawo mulujjudde nti: Bannange mujje tulye Ekyekiro, oba nti: Gundi yatusaanze tulya ekyekiro!

 

 

 

Exit mobile version