Okwenunula Mu Uganda: Okuva Mu Kwenunula N’okudda Mu Busibira Mu Bbwa
Wuliriza Bizonto N'akatambi Kaabwe Akalaga Abantu Ekyokukola: Obujulizi Bwomupoliisi Mu Janwali 2021, Bwaakakassa Ebyaali Byogerwa Bannansi Abaali Balumiriza Gavumenti Okutta Abantu Beyali Erina Okukuuma N'ebyaabwe.
Uganda Leero: Okwenunula Mu Uganda: Okuva Mu Kwenunula N’okudda Mu Busibira Mu Bbwa
Bizonto bagagamba nti ku lunnaku olumu, Yoweri Museveni n’eggye lya National Resistance Army (NRA) baakwaata ebyokulwanyisa nebasobola okujjako gavumenti ya Milton Obote. ekisuubizo kyaabwe kyaali kyangu naye nga kyamuggundu: Okununula abantu okubajja mu nfuga ey’obunyunyunsi, okunyigirizibwa n’efugabbi. Bizonto bagamba nti Museveni yakozesa okuyayaana kwa banna Uganda kwebaalina okununula e Ggwanga, Abaganda nebamwegattako okufuna enkyukakyuuka. Liba teriri busa, nga twadda dda mu sengavuddemu ngaddemu mu myaaka gino ana.
Akatambi akasooka ku butambi 100 bwebasuubizza aka Bizonto kawulirize
Bizonto bagamba nti Uganda yakakano eya Museveni eyimiridde kukutyoboola eddembe ly’obuntu , okubba eby’obugagga bye Ggwanga nga bagaggawaza akakundi k’abantu abatono abali ku lusegere lw’omukulembeze. Essuubi n’okujaganya ebyajja ne Museveni kati byafuuka okwemulugunya kw’okunyagulula e Ggwanga okubunnye e Ggwanga.
kati Bizonto basazeewo okkulembera olutabaalo lw’okwenunula nga bakozesa okwogera akaati nga bwowulira mu katambi kano. Munsi ejjude okutulugunya buli agezaako okwogera ku bulabbayi n’obukenuzi , Bizonto bagamba nti bali bulindaala okutusiibwaako ebinaddirira mu lutabaalo lwebakulembeddemu okuzza e Ggwanga lyaabwe mu nteeko.
Bizonto basazeewo kufulumya obutambi 100 nga bugendereddwaamu okuzibula abantu amaaso banna Uganda basobole okuva mu kunyigirizibwa.
Bizonto bagamba nti okutta abantu okwakolebwa abebiijambiya police yali ebimanyiiko era nti bebatambuzanga mu motoka okubatwaala mu bitundu we battanga abantu mu bitundu bye e Masaka. Bino byonna byanyonyolwa eyali omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu kiseera ekyo Mathias Mpuuga Nsamba, ate oluppapula lwa gavumenti olwa Bukedde lwakuba eggulire lino nga January 12, 2021 nga liraga omupoliisi eyavaayo nayasanguza nti poliisi yali mabega wa bijambiya. Robert Kyagulanyi Ssentamu (amanyiddwa nga Bobi Wine), yawangula Yoweri Museveni mu Buganda yonna, wano Bizonto webansinziira okukubiriza abantu olwebikolwa nga bino ebikolebwa gavumenti eri mu buyinza.
Obujulizi bwomupoliisi ono, bwaakakassa ebyaali byogerwa abannansi abaali balumiriza gavumenti okutta abantu beyalina okukuuma n’ebyaabwe.
Bizonto bagamba nti embeera eriwo leero mu Ggwanga erina okukwaatibwa amavumbavumba okusobola okummega gavumenti eyabefuulira edda ate nga bajja nga abanunuzi. Bagamba nti buvunanyiizibwa bwaabwe okuzza omwooyo gwe Ggwanga ogutafa, balina okuzaamu abantu amaanyi benunule.