Site icon Uganda Today

Okwaabya Olumbe Mu Buganda

Okwaabya Olumbe Mu Buganda

Buganda y’ensi eyasiimwa Katonda nagiggonomolako ebirungi bingi omuli okuba nti yali yasengekebwa mu massekkati g’ensi eyatondebwaawo oluvanyuma ly’okugatta  ebitundu by’obwakabaka obwaali bumaze okufugibwa abafuzi abamattwale  okuva mu 1894.

Buganda okuva edda ne dda lyonna, ly’eggwanga eririna ennono n’obulombolombo ebyenjawulo ennyo obutafananako namawanga malala, si wano wokka mu Uganda, naye nawalala  mu Africa ne munsi yonna. Enteekateeka y’ebyobuwangwa bwa Baganda nga bayita mu bika byaabwe ebisukka mu 50, muzingiramu ennambika y’okuwasa nokufumbiriganwa. Omuganda tawasa oba tafumbirwa muntu wa kika kye oba ekika kya nyina. Era bwatyo Omuganda tawasa oba tafumbirwa muntu azalibwa omukyala ow’ekika kye. Okuwasa n’okufumbiriganwa nga biyita mukwekennenya   n’okutuukiriza emitendera gino, byebyawula ebika buli kimu kukinaakyo. Ate era n’ekirala nga kikulu  nnyo, kwekutangira okutambuza endwadde ez’omumusaayi nga obwa Nalubiri (Sickle Cell).

Akalombolombo N’amakulu  G’okwaabya Olumbe.

Abaganda okuva edda ne dda lyonna baalina enkola nga bayita mu nyumba, olugya olunyiriri, omutuba, essiga n’akasolya mwebayiitanga okuwandiika buli mwaana eyazalibwanga mu kika. Kino kyawanga Kabaka ku ntikko okumanya obungi bw’abantube nasobola okubatekeratekera obulungi. Mungeri y’emu, omuntu yenna, bweyafanga naddala omusajja, era nga emitendera gyegimu giyitibwaamu okutegeeza Ssabasajja Kabaka nti omusajja we obo omuzaana we  mu Ssaza lye lino oba liri, yafa era nga basaba asiime ayabizibwe olumbe. Kino kyekiyitibwa okutambuza olumbe.

Omugeenzi bwaaba omusajja, mukutambuza olumbe, abakikola balina okulutambuza nga bayita mu mitendera egyo, n’olukalala lwe kiwandiiko ekirambika abaana n’ebyobugagga  by’omugeenzi byaaba alese. Omuntu bwaaba tanafa, waddembe okugabanya ebyobugagga bwe era ekiwandiiko kigenda okutuuka ku ntikko nga ab’ekika bonna bammanyi engeri eby’obugagga  by’omugeenzi gyeyabigabamu mu kiraamo.

Okwaabya Olumbe

Olumbe mu mpisa y’Abaganda lwabizibwa, nga omukolo guno gutandika n’okusulwaamu ku lwokutaano (Nagawonye) ate enkeera kulw’omukaaga (Wamunyi) olumbe nelwabizibwa. Naye abantu baddembe okutandika okungaana okuva emabega okusinziira nga bwebaba bagadde.

Ekiro  ky’olwokutaano abekika batuula mu lukiiko okuteesa ku byobusika by’omugeenzi naddala bwaaba nga teyaleka kiraamo. Era olukiiko luno lukozesebwa okugonjoola ensonga zonna omuli obuttakkanya mu nyumba eyo era bwekiba kisobose n’abenyumba endala mukika ababa balina ensonga z’okugonjoolwa nazo zisobola okuteesebwaako.

Bino bwebiggwa abantu baddembe okweebaka nebetegekera okufulumya olumbe. Wano abamu bayinza okukuba emigaabe n’okunywa omwenge singa baba bagaadde.

Nga okufulumya olumbe  okutandika mu mattuluttulu kuwedde, kumakya mukalasa mayanzi, omusumisi omukulu aba yalondeddwa, akkuba omubala gw’ekika nga amaze okutegeka omusika ne Lubuga nga ayimiridde kukifuggi ky’enyumba. Omusumisi omukulu ayambaza omusika ekifundikwa nga bwalamiriza omuntu oyo nti asikkidde omugeenzi  aba yakafa ate era namutegeeza nti asikkidde gundi ne gundi omugeenzi baaba yasikira. Amukwasa effumu nga akabonero akalaga nti gwaddidde mubigere abadde musajja enkwaata Ngabo nti era naye alina okuba bwaatyo omulwaanyi namigge alwanirire ensiye  era aleme kutiririra  Ssabasajja Kabaka.

Omusika Ne Lubuga we nga bamaze okusumikirwa. Abaganda Bambala ekanzu ne Kooti ( abasajja) ate Abakyala bo nebambala Busuuti Nebanekaneka nga baabya olumbe

Lubuga omukyala atera okuba mwanyina w’omusika azaalibwa Kitaawe omulala, abeerawo nga akabonero akalaga nti omusajja alina okuba n’omukazi. Era ono asumikibwa nakwasibwa akambe n’endeku erimu omwenge n’oluseke era wano akubirizibwa okulaba nti alima emmere mumaka, era nti mu nyumba temuli kubo, kale n’olwekyo, buli muntu akyadde awaka, alina okubudabuddibwa n’okuweebwa ekyokulya.

 

Kino nga Kiwedde, abantu abalala bonna baddembe okusumikira omusika nebigambo byokubulirira era nokubangira omusika ensawo kwaaba atandikira okutwaala obuvunanyiziibwa obuba bumukwasiiddwa. Wano nga omukolo guno omukulu guwedde, okugabula kuntandika abantu nebalya nebanywa.

Oluvanyuma, ab’ekika abatononotono, n’abaana bonna abazaliibwa omugeenzi bayingira mu nyumba y’omugenzi, nebafulumizibwa Jjajjabwe nga bali mulunyiriri nga bwebakaaba nga bebikiridde engoye kumitwe, wano bolekera olusuku nebamweebwa Jjajjabwe enviiri. Okumweebwa enviiri kekabonero akabawula kubantu abalala nti be ba mulekwa ababizidwaako olumbe lwa Kitaabwe oba Nyaabwe. Okukaaba kabonera akakomekereza okukaabira omugeenzi anti omusika aba amaze okusumikirwa era n’okulagibwa buli muntu nga omusika w’omugeenzi amuddidde mu bigere. Bwaaba omusajja, omusika atera kuba omwaanawe omulenzi, bwaaba tamulina, omugeenzi bwaaba yalaama, aba waddembe okusikkirwa nga alonda omuntu yenna gwaaba ayagadde mu lubu lw’abantu bano

Omu ku bagandabe

Omu kubazzukulube omulenzi  (amwaana azaalibwa omwaana wamugandawe) oba

Omu kubaana abalenzi ababagandabe

Ate omugeenzi omukyala asikkirwa omwaana wa mwanyina omuwala oba muzzukuluwe nga ava mukika kye. Mukwaabya olumbe buli muntu oba musajja oba mukazi asumikkirwa ne Lubuga ono alina kuba mukazi.

Abako Mukwaabya Olumbe   

Abako, bebantu abawasa mu luggya olwo oba mukika ekyo. Bano bavunanyizibwa okujja mu lumbe era balina okuleeta omwenge okugabulwa mu lumbe nga okulya emmere kuwedde. Wano buli muwala ava mu luggya olwo, akulembera bba nga amujja mu kifo weyasuziddwa, eno etera kuba ensisira eba yategekeddwa omuwala avunanyizibwa, namuleeta namwanjula eri abekika ababa batudde mu nti oyo ye bba era abaleteedde ekita ky’omwenge banywe nga bamaliriza olumbe lwa Kitaawe oba mwanyina.

Abaganda, nga abazungu n’abawarabbu nga tebannajja kuno, baalina okukkiriza nti katonda gyaali era nti yabasindikira Walumbe okubayiganya n’okubatta. N’olwensonga eyo, omuntu bwaafa, balina okwaabya olumbe n’ekigendererwa okugoba olumbe munju nga bakola omukolo gwokufulumya olumbe lulema okudda amangu okuyigganya n’okutta omulala. Wanonno Abaganda webateerawo akalombolombo akokufulumya olumbe kebakola mummattuluttulu nga wano abantu bonna abazze okwaabya olumbe, bazukusibwa newataba noomu asigala nga yebasse, nebatandika okuyimba enyimba ezifulumya olumbe. Kino nno kabonero ekenkukunala akalaga nti Abaganda, baali bamanyi Katonda nga abawarabbu n’abazungu tebannajja. Mukusinza Katonda, okufanaganako n’enzikiriza y’abazungu enyimba ezenjawulo mweziyimbirwa, n’Abaganda, bayimba enyimba ez’enjawulo okufulumya olumbe.

Amakulu Agokumanyagana Mu Kwaabya Olumbe  

Nga bwenanyonyodde waggulu, Abaganda bawandiisa omwaana azaaliddwa mu kika, era omuntu oyo bwaaba afudde, ab’ekika bonna balina okumanyisibwa, era ensonga eyo netuusibwa kuntikko ewa Sabasajja Kabaka. Okwaabya olumbe kulimu amakulu amakusike agokumanyagana, ab’ekika, ab’emikwaano, n’abako  n’abataka,  bakungaana newabaawo okumanyagana.

Kino kikwaata nnyo kub’ekika okumanyagana n’okwewala okuwasagana n’okufumbiriganwa okutakirizibwa mu mpisa z’Abaganda. Nga bwekyalambikiddwa, waggulu  abantu abomuzizo omuntu batasaniidde kuwasa oba kufumbirwa bonna bajja mu kwaabya olumbe kino nekiretera abantu bonna okumanyagana naddala abajjwa. Abajjwa bebaana abazaliibwa abaana ab’obuwala mu basajja  abebika ebirala.

 Abajjwa Mu Kwaabya Olumbe

Abajjwa bebaana abazaliibwa abaana abawala nga bava mu basajja  ab’ebika ebirala. Kale nno abajjwa tebaba ba kika kyabanyaabwe, naye balina omukolo gwebakola mu kika kyabanyaabwe naddala  nga nyaabwe ayabya olumbe lwa mwanyina. Bano bakola omukolo ogwokukokola nga bamala ebibamba mu luggya olwo. Nga omusika w’omugeenzi  amaze okusumikibwa n’okuweebwa ekifundikwa nga nokugabulwa kuwedde, bano olwokuba si bakika, Abaganda bakiriza nti bo balina okugangibwa okuva eri Katonda okusobola okugoba ebisirani byonna ebyookola n’emikisa emibi mu luggya lwa Kojjabwe. Bano Omusika nebakojjabwe abalala babawa ensimbi era nebabalagira okukokoola nga muno mwemugendera omulimu gwokuzimbulula ensinsira zonna abazze okwaabya olumbe mwebaba basuuzze eggulo limu, okweera era nokulongoosa oluggya buli kintu kyonna ekisangibwa abajjwa bano awantu wonna, abajjwa baddembe okukitwaala, era ggwe nyinni kyo bwooba oyagala okinunula, oba olina okubawa ensimbi. Kuba, bo bwebaba batandika omukolo, guno, gulangirirwa era buli muntu nategezeebwa nti okwaabya olumbe kugenda okommekerezebwa n’omukolo gwa bajjwa. Kano nno kekabonero akalaga nti olumbe luwedde okwaabya. Abajjwa bankizo nnyo mukwaabya olumbe era baweebwa omutwe gwe nte oba ekisolo kyona ekiba kittiddwa okugabula mu lumbe.

Exit mobile version