Site icon Uganda Today

Okkuzza Omuzigo Kye Ki?

OKUZZA OMUZIGO

Mu mpisa n’obuwangwa bwa Baganda, waliwo omukolo ogukomekereza emitendera omuntu gyalina okuyitamu okumaliriza okuwasa oba okufumbirwa. Okkuzza omuzigo gwe mukolo ogusembayo. Edda nga  abawarabbu nabazungu tebannajja kuno, tewaali omulimu mulala  eri omukyala mu Buganda okujjako okulima n’okulunda ebisolo ebyenjawulo.

N’olwekyo buli musajja eyawasanga, nga omukyala gwawasizza abeera alina omulimu gumu gwokka gwa kulima mpoozi n’okufumba. Okuwasa n’okwogereza omukyala mu mpisa z’Abaganda kwatandikanga  n’omuzadde omusajja okulaba omuwala gwaagwanyiza mutabaniwe, naatukirira abazadde b’omuwala nabategeeza nga muwala waabwe bwamwagaliza mutabaniwe, kino abazadde b’omuwala bwebakisiimanga, nga babagulizaako muwala waabwe, naye bweyabanga  omulenzi gwebogerako ammumanyi, olwo yakirizaanga obo okugaana.

Omuwala Yettikanga Ettooke nga awerekerwaako bagandabe ne banyina ne Senga

Naye ebiseera ebisinga abazadde b’omuwala bwebasiimanga ekirowoozo ekibawereddwa, omuwala okugaana kyabaanga kizibu. Olumu bamufumbizaanga nga nomusajja  gwagenda okufumbirwa tamumanyi!. Kino bwekyaggwanga, omuwala bweyabanga tawerezeddwa wa Sengawe, kumubangula, yasindikibwanga ewa Sengawe amutegeeze  nga bweyali afunnye omusajja ow’okufumbirwa.

Wano Senga w’omuwala yatandikirangawo okutekega okukyaaza omulenzi amulabe nokutegeka okumwanjula mu maka gaabazadde b’omuwala.Wano omukolo oguddirira gwe gw’okwanjula ate guno neguddirirwa embaga ezingiramu n’okutwaala “kasuze katya”

Omukolo Gwo Okkuzza Omuzigo

Guno gwe mukolo ogukomekkereza okuwasa wano mu Buganda.

Gukolebwa gutya?
Singa omuwala agenda mu bufumbo nga embaga ewedde,amalayo ennaku 14 n’akomawo okutegeeza ssenga nga bwe bitambula ( eby’omukisenge) olwo bonna awaka ne basanyuka era ne batekateeka ebyo by’aba alina okutwala. Singa Omuwala akawangamula nti omusajja gwaba afumbiddwa yatomerwa Endiga, olwo omukolo guno tegukolebwa okutuusa nga omusajja ajjanjabiddwa nawona.

Biki ebitwalibwa?

Abakyala nga beettise enkota z’amattooke ku mitwe

Ettooke
Embuzi enkazi
Enkoko
Ekita ky’omwenge
Nebirala.
Wano omuwala azingirwa enkata era attikkibwa ettooke n’enkoko ate baganda be wamu ne mwanyina ( eya mugaba) bamwettikkirako ebirala era ne ssenga talutumirwa mwana.. Ew’omusajja babeera babalindiridde ng’enkonge y’okukkubo era babeera bategese eby’okulya.

Kasita batuuka,wakati mu kusakaanya,omwami attikkula kabite we era omukolo oguddako gwa kulwanira nkata.

Wano omwami ne mukoddomi we eyamuwa omukyala batandika okulwanira enkata nga bayambibwako bannyinaabwee ku njuuyi zombi.

Kiki ekibaawo singa abooludda lw’omukyala bagitwala?

Kino kitegeeza nti obufumbo buli mu mattiga era omuwala yayagala nga nnyo bba agitwaala okusobola okunywera mu bufumbo. Enkata eno ezingirwamu eddagala okusobozesa omukyala okulya eddya.

Omukolo guno gugeenze guddibizibwa era batono abakyagukola ensangi zino newankubadde Nabagereka wa Buganda yagukola nga okkomekereza emikolo gy’okufumbirwa Ssabasajja.

Exit mobile version