Site icon Uganda Today

Obwakabaka Bwa Buganda Busse Omukago N’ekibiina Ekikwanaganya Bannamateeka Mu Ggwanga

Ow’ekitiibwa Ssabawolereza w’obwakabaka Christopher Bwanika n’akulira Bannamateeka Mu Ggwanga Pheonah Wall nga bakamala okussa omukono ku ndagaano

Obwakabaka nga buyita mu kitongole kyaabwo eky’ebyamateeka ekya Buganda Royal Law Chambers, busse omukago ne Uganda Law Society okutuusa obuweereza mu by’amateeka eri abantu ba Kabaka.

Ensi okukula erina kutambulira ku mateeka ng’abantu bafuna obwenkanya.

Ssaabawolereza, Owek Christopher Bwanika,
yataddeko omukono kulw’obwakabaka ate Phiona Wall nassaako kulwa Uganda Law Society.

Enteekateeka eno egenda kutandikira mu masaza omuku Busiro, Buddu, Mawokota, mu kaweefube w’okulaba nga buli muntu afuna obwenkanya.

Exit mobile version